Leero ennaku z’omwezi ziri 10 October, 2024, lunaku lwakwefumiitiriza ku ndwadde z’emitwe mu nsi yonna World Mental Health Day, ng’abakugu bagamba nti ebbula lya sente, okutulugunyizibwa mu maka,ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka n’okukozesa ebiragalalagala nti byebisiinga okuvaako endwadde eno okwegiriisa.
Ebibala ebyakafulumizibwa ekitongole ky’ebibalo mu Uganda biraga nti bannauganda ebitundu 18%, batawaanyizibwa endwadde z’emitwe.
Abakugu mu kubudabuda abantu bennyamivu nti emize egy’obumenyi bwamateeka egyeyongera mu ggwanga, gyandyongera endwadde z’emitwe, olw’okuteeka abantu ku bunkeneke.
Ebikolwa okuli okubbira abantu ku makubo mu lujjudde, Obufere, ettemu nebirala byonna biviriddeko endwadde zeemitwe mu bantu okweyongera.
Abantu ebitundu 13% embeera yabwe eri ku ssa ly’okutabukira ddala emitwe, ate abalala ebitundu 8% batawanyizibwa okwenyamira, ebitundu 4% babeera mu kweraliikirira n’okuba ku bunkenke buli kaseera, sso nga ekitundu 1% embeera eno ebaviriddeko n’okwagala okwetta.
Ali Male, omu ku bakugu mu kubudabuda abantu ku ndwadde z’emitwe, era omutandisi w’ekitongole kya A_Z Professional Counselling and Support Centre Ltd, agamba nti government esaanidde okuteekawo ebifo ebiyinza okuwa abavubuka emirimu, okubudabuda abakoseddwa, okulwanyisa obwavu baleme okwenyigira mu bikolwa ebikyamu.
Mungeri yeemu ministry y’ebyobulamu erabudde abakozesa n’abakulembeze mu bitundu ebyenjawulo, okukwasizaako abantu bebakulembera ku mbeera eviirako endwadde z’emitwe okweyongera.
Omumyuka wa kaminsona avunanyizibwa ku ndwadde z’emitwe mu ministry yeebyobulamu, Dr. HAfiswa Lukwata, agamba nti abantu bangi bafunye obuzibu ku mirimu webakolera olw’embeera gyebayisibwamu.
Dr. Lukwata agambye nti okukabirirwa, okusosolwa, okutuuntuzibwa n’embeera endalala ekaluubiriza abakozi n’abantu abakuliraanye esaanye okulwanyisibwa bunnambiro.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis