Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,akyalambula abantu ba Beene mu America, n’okunoonya bannamikago mu byenkulaakulana y’Obwakabaka.
Katikkiro ng’ali wamu ne Baminisita; Owek Mariam Nkalubo Mayanja n’Owek. Joseph Kawuki n’ekibinja okuva embuga, bakyaddeko ku kitebe kya Bannamukago aba Wells of Life, e Los Angeles California mu America.
Aba Wells of Life abakulembeddwamu Nick Jordan, mu mukago gwebaliba n’Obwakabaka, baakasima enzizi ezisoba mu 800, mu bitundu eby’enjawulo, mu kaweefube ow’okutuusa amazzi amayonjo ku bantu ba Beene.
Enzizi zino okusiga zisimiddwa e Kassanda, Mubende, Ssingo, Busujju n’ewalala.
Beeyamye okutwala mu maaso omukago guno nga basima enzizi endala okumalawo ebbula ly’amazzi amayonjo mu Buganda.
Katikkiro Charles Peter Mayiga era alambudde Diocese of Orange Christ Cathedral, mu Orange County, e Los Angeles mu California.
Ayaniriziddwa Permanent Deacon w’ekifo kino Peter Morales, ne Steve Pellegrino addukanya ebyensimbi.
Katikkiro atenderezza obukugu obwakozesebwa okugiwunda ne tekinologiya ow’ennanga ali mu Eklezia eno.
Katikkiro abadde n’Omulangira David Kintu Wassajja Baminista: Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja n’Oweek. Joseph Kawuki, n’abakungu abalala abaava embuga.
Bwava e Califonia wakwolekera Boston ne Massachusetts yeetabe mu Missa ey’okujjukira abajulizi ba Uganda nga 11 June, 2023, ku St. Mary’s Church, 30 Pond Street, Waltham, n’oluvannyuma asisinkane Bannayuganda ababeera e Boston ku kyeggulo. #