Bya Ddungu Davis
Government ya Uganda yakutandika okuweereza abasawo mu Bungereza, okwongera okubangulwa mu bukugu obw’enjawulo, ng’omu ku kawefube w’okusitula ebyóbujanjabi mu Uganda.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’obulamu, Dr. Diana Kanziira Atwine agamba nti Uganda ekoze emikago n’amalwaliro amakulu n’ebitongole ebyamaanyi mu Bungereza okuli The Welcome Trust, British Medical Journal, NHS Health Education England ne Cambridge University.
Atwine annyonyodde nti waliwo ne kampuni ezikola eddagala ly’abantu ezigenda okujja mu Uganda, okuzimbayo amakolero aganafulumya eddagala kiyambeko okukendeeza ku beeyi y’eddagala mu Uganda.
Amakolero gano agéddagala gasuubirwa kuzimbibwa mu district ye Nakasongola.
Mu kiseera kino Dr. Diana Atwine ali Bungereza, yagendayo nga 25 April,2022 okwetaba mu luku𝝶aana lwábakugu mu byómulamu, bavudde mu mawanga ga East Africa agaaliko amatwale ga Bungereza, olwa UK-East Africa Health Summit.
Mu luku𝝶aana luno Dr. Atwine asiimiddwa era náwebwa engule olwámaanyi geyasaamu mu kulwanyisa covid 19 mu Uganda.
Oluku𝝶aana luno luyindidde ku British Medical Association (BMA) House mu kibuga London.
Dr. Atwine agamba nti kyazuliddwa mu lutuula luno, nti amawanga ga East Africa ebitundu 70% ku ddagala lyegagula liva bweru waago, nga nólwekyo gasaanidde okuyambibwako okwongera ku ddagala lyegakola, n’obukugu bwábasawo baago.
Bino bijidde mu kiseera nga waliwo abasawo abakugu abaakamaliriza okutaggulula abaana abalongo aba nnabansasaana, abaazalibwa ng’embuto zegasse nga kino baakikolede mu ddwaliro ekkulu erye Mbarara.