Uganda Martyrs University Nkozi mu district ye Mpigi ejaguzza emyaka 30 bukyanga etandikibwawo, ku mukolo gw’amattikira g’abayizi ag’omulundi ogwa 29.
Abayizi 1673 bebafunye degree, diploma ne certificate, nga kubano kuliko abayizi 3 abafunye degree eyokusatu.
Ku mukolo gwegumu, Minister w’ensonga za ssemateeka n’essiga eddamuzi Nobert Mao agguddewo mu butongole ekizimbe ekipya ekigenda okubangulirwamu abayizi abasoma amateeka.
Abayizi 26 bebafunye degree mu by’amateeka nga bebasookedde ddala okufuna degree yamateeka mu ssettendekero ono.
Chancellor wa Uganda Martyrs Nkozi ngeera ye musumba w’essaza lya Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa akuutidde abayizi abamalirizza emisomo okuba abeesimbu, okukola ennyo emikwano ate banyweerere ku Katonda.
Amyuka Chancellor wa Nkozi University Professor Patrick Kyamanywa agambye nti mu myaka amakumi 30 Uganda Martyrs University Nkozi gyeyakamala, batuuse ku bibala bingi omuli eky’omuwendo gw’abayizi ogweyongedde.
Nkozi yatandika n’abayizi 84 Kati erina abayizi abasukka mu 6000.
Erina amatendekero agawerako okuli eritendeka ba Engineer e Fortportal, Ebbanguliro ly’abasawo erye Nsambya, Ebbanguliro ly’ebyobulimi erisangibwa e Ngeta Lira, Ebbanguliro ly’abasomesa e Mbale nemubitundu ebirala.#