Ministry y’ebyobulamu ekakasizza nti etandise okugezesa eddagala ly’empiso eritangira akawuka akaleeta mukenenya erimanyiddwa nga CAB-LA mu banna Uganda.
Banna Uganda abasoba mu 800 bebasuubirwa okugezesebwako eddagala lino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okuzuula obusobozi bwalyo mu kutangira akawuka ka mukenenya.
Eddagala lino likubibwa omuntu okuyita mu mpiso, era lisobola okumutangira okukwatibwa mukenenya nebwaba yeegasse n’abalina akawuka wadde nga takozesezza nkola ndala ng’obupiira, nebirala.
Eddagala lino lisobola okutangira okumala ebbanga lya myezi 2 era omuntu addamu okufuna empiso eyo ssinga ebbanga eryo liba liweddeko.
Dr Herbert Kadama, omukugu mu by’okunonyereza ku kawuka ka mukenenya agamba nti balina eddagala ly’abantu 800, okumala omwaka mulamba era bakukola kwaboabaagala okuligezaako bokka abewaddeyo.
Agambye nti basuubira okufuna doozi z’eddagala endala 3,500 erinaatwalibwa mu malwaliro amalala 10 era lyakukola ku bantu 500 nga lino lisuubirwa okuleetebwa mu mwezi ogwokubiri omwaka ogujja 2025.
Obulwadde bwa mukenenya buzeemu okweyongera mu Uganda nga bwavudde ku bitundu 5% nebutuuka ku bitundu 5.1%, ng’obulwadde businga mu bavubuka abawala wakati wemyaka 15-25 n’abasajja abattuludde wakati wemyaka 40 okweyongerayo.
Banna Uganda akakadde kamu n’ekitundu bebalina akawuka wabula abantu emitwalo 20 tebamanyiddwako mayitire ate nga tebali ku ddagala..