• Latest
  • Trending
  • All
Uganda erimu abantu obukadde 45,935,046 – abavubuka bali ebitundu 74%

Uganda erimu abantu obukadde 45,935,046 – abavubuka bali ebitundu 74%

June 27, 2024
Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde

May 24, 2025
MUBS etikidde 510  – mulimu abasibe

MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe

May 23, 2025
Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024

May 23, 2025
Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti

May 23, 2025

UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

May 22, 2025

FUFA eyanjudde ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwa club zababinywera

May 22, 2025

Obuwumbi obusoba mu 5 ezokulondoola PDM – Ssozi Galabuzi ayitiddwa abitebyetebumanyiddwako mayotire

May 22, 2025

President Museveni alabudde abakozi ba government abeebakira ku mirimu – anokoddeyo ekitongole ky’amazzi n’amasannyalaze

May 22, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omuzigu akubye babiri amasasi agabattiddewo e Namayumba

May 22, 2025
Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

Katikkiro Mayiga atuuse e Boston – agenda kusooka kusisinkana aba Ggwangamujje Boston

May 22, 2025
Ababaka ba parliament 7 besozze NUP  nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

Ababaka ba parliament 7 besozze NUP nga wabulayo mbale okutuuka ku kalulu ka 2026

May 21, 2025
Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

Aba NRM abaataataganya okulonda kwe Ssembabule kooti ebayimbudde

May 21, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Uganda erimu abantu obukadde 45,935,046 – abavubuka bali ebitundu 74%

by Namubiru Juliet
June 27, 2024
in Amawulire
0 0
0
Uganda erimu abantu obukadde 45,935,046 – abavubuka bali ebitundu 74%
0
SHARES
260
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ekitongole  ky’ebibalo  mu ggwanga  ki Uganda  Bureau of Statistics – UBOS kifulumizza ebyava mu kubala bannauganda nga bali   obukadde  45,935,046.

Emiwendo gino givudde mu kubala abantu mu Uganda okwakebwa okuva nga 9 okutuuka nga  26 May,2024.

Omuwendo   gwa Bannauganda   ggulinnye  okuva ku bukadde 34 n’emitwalo 60  Uganda beyalina mu 2014  okutuuka ku bukadde 45 n’e mitwalo 90.

Abantu obukadde   11 n’emitwalo 30  bebeyongeddeko mu myaka 10 , by’ebitundu 3%

UBOS etegeezezza nti ku bukadde bw’abantu   45 n’emitwaalo 90,  kuliko abanoonyi boobubudamu emitwalo 78 abawangaalira mu nkambi ezenjawulo.

Ebibalo  biraze ntimwendo gw’abakazi  munene okukira  ku Basajja.

Abakazi bali obukadde 23  by’ebitundu 51% ate abasajja bali obukadde  22  nga bakola  ebitundu 49%.

Abaana  wakati wolunaku lumu n’emyaka 17 mu Uganda bali ebitundu 51%.

Abavubuka ebe myaka  18-20 bali ebitundu 23% nga kitegezeeza abaana n’abavubaka bakola ebitundu 74%.

Abakadde abasukka emyaka 60 bali ebitundu 5.% , Omuwendo gwa bannauganda  abaliko kyebakola  nga bali wakati  w’emyaka 14-64  bali  ebitundu  55.6%.

UBOS mukubala kweyakoze  yakizudde nt Uganda  erina  Amaka  obukadde 10 mu emitwalo 84.

Mu  2012 yalina amaka obukadde 7  nemitwalo 24.

Mu  2002 yalina amaka obukadde  5.

UBOS mungeeri yeeemu etegezeezza nti yatuuka mu maka obukadde 11, wabula agamu   yasanga bannyini go bali ku mirimu , nga naabalala baayabulira dda Uganda baagenda  mitala wa Mayanja.

Ebyavudde mu klubala biraga nti  Kampala  yesinga ebibuga byonna  okwettanirwa abantu   buli lunaku, abantu emitwalo 62 wakiri balinnyako ekigere mu Kampala.

Ababeereramu ddala era nga mwebasula bali akakadde 1 n’emitwalo 87.

Ekibuga Mbarara kikungaannya abantu  emitwalo 63,318 , nga kirina abatuuze  emitwalo 26.

Masaka  ekungaanya  abantu emitwalo 4,2976  ate  abatuuze mu Kibuga kino bali emitwalo 285,509.

 Ekibiga Jinja abantu abayingirayo bali emitwalo 7, ate nga muwangaliramu abantu emitwalo 29.

EKibuga Mbaale kirina Omuwendo gw’abantu emitwalo 8 ababeeramu emisana , so nga abantu emitwalo 28 batuuze.

 Fortportal erina  abantu emitwalo 13 , so nga abantu emitwalo 4 bebayita mu kibuga ekyo.

Arua ewangiramu abantu emitwalo 38 ,ate abantu emitwalo 5 bayitako mu kibuga kino buli lunaku.

Alipoota alaze nti abantu abasinga obungi bali mu bitundu bya Buganda, bali obukadde 13.

Busoga erina abantu obukadde 4 n’emitwalo 37.

Westile Nile yakusatu n’obukadde 3nemitwalo 90.

Ankole obukadde 3 n’emitwalo 60.

Tooro obukadde 3 n’emitwalo 3.

Bunyolo erina a abantu obukadde 2 n’emitwalo 80.

Lango obukadde 2 n’emitwalo 57.

Teso abantu obukadde 2 n’ekitundu.

Bukedi obukadde 2 n’emitwalo 38.

Elgon erina abantu obukadde  2 n’emitwalo 21.

Acholi obukadde  2.5, Kigezi akakadde 1,80.M karamojja nesembayo n’bantu akakadde 1 n’emitwalo 45.

Omukulembeeze we ggwanga  Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuharwa asinzidde ku Serena Hotel mu Kampala   mu kwanjula ebyava mu kubala naagamba  nti okumanya ebibalo  ebituufu ebiri mu  Uganda, byakubayamba okuyamba omuwendo gw’abantu bebalina okuteekerateekera, era n’acoomera abalyake n’abakenuzi nti bebasibidde eggwanga emabega.

Ssenkulu wa UBOS Dr. Chris Ndatira Mukiza  ategezeezza nti omulimu gw’okubala abantu tegwaali mwangu nakamu ,kubanga ebyuma byasooka kufa , obutemu obwakolebwa ku bakozi b’ekitongole , abantu okubayigganya nga waliwo naabatuuka okuteera embwa abali babala , nga waliwo nebitundu bingi ebyebakaluubiriza  olw’obusambatuuko obuliyo.

Okubala kuno kwamulundi gwa 10, naye nga ebyavudde mu kubala kuno ebyenkomeredde byakufulumizibwa mu December w’omwaka guno 2024, era guno gwemuteeko ogusoose ku miteeko esatu Alipoota mwesubirwa okufulumizibwa .

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius ne Kato Denis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Kabuye Ssembogga @42 – yebazizza bonna abamuwagidde
  • MUBS etikidde 510 – mulimu abasibe
  • Abatendesi b’omupiira basatu bebasunsuddwa okuvuganya ku ngule y’omitendesi eyasiinga mu 2024
  • Eηηuumi n’ensambaggere bimyoose mu kooti e Nakawa – Dr.Kiiza Besigye ne Obed Kamulegeya bakomezeddwawo mu kooti
  • UPC esunsudde babiri abagenda okuvuganya ku bwa president 

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -