Kyadaaki ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes eyiseewo buterevu okuvuganya mu mpaka ezakamalirizo eza Africa Cup of Nations ezigenda okubeera e Morocco omwaka ogujja.
Uganda Cranes okuyitawo kidiridde South Sudan okukuba Congo Brazaville goolo 3-2 e Juba olwaleero.
Uganda Cranes egenda kuzannya ne South Africa ku Friday nga 15 November,2024 okuzannya ne South Africa nga erwana kusigala nga ekulembedde ekibinja K.
Uganda Cranes egenze okuyitawo nga esigazayo emipiira 2, ne gwe genda okuzannya ne Congo Brazaville nga 19 omwezi guno.
Oluvanyuma lwa Congo Brazaville okukubwa, kitegeeza nti ne bwewangula omupiira ogubulayo ng’ettunka ne Uganda, tekyasobola kutuuka Uganda Cranes.
Mu kiseera kino Congo Brazaville erina obubonero 4 ate nga Uganda erina obubonero 10.
Uganda Cranes kati egenda kukiika mu Africa Cup of Nations omulundi ogwomunaana, nga yasooka 1962, 1968, 1974, 1976, 1978, 2017 ne 2019, nga kakaano egenda kuvuganya mu mpaka za 2025.
Uganda Cranes lwe yasinga okukola obulungi mu mpaka zino, lwali mu 1978 bwe yatuuka ku fayinaali naye Ghana n’egikuba goolo 2-0.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













