Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes yeemu ku ttiimu 10 ezisunsuddwa okuvuganya ku ttiimu z’amawanga agasinze okukola obulungi omwaka guno 2024, mu ngule z’ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF.
CAF yakakasiza nti okutikkira banna byamizannyo abasinze okukola obulungi mu mupiira omwaka guno 2024 kugenda kubeerawo nga 16 December, mu kibuga Marrakech ekya Morocco.
Uganda Cranes evuganya evuganya ne ttiimu z’amawanga amalala okuli okuli Ivory Coast bannantamegwa b’empaka za Africa Cup of Nations.
Ensi endala kuliko South Africa, Nigeria, Morocco, DR Congo, Sudan, Angola, Burkina Faso ne Mozambique.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe













