Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes etuuse mu kibuga Bamako gy’egenze okuzannya ne Mali omupiira ogw’omukwano, gugenda kubeerawo ku friday nga 13 October,2023.
Ttiimu eno amakanda egakubye ku Micasa Hotel, gyesuubira okuva leero etendekebwemu omulundi gwayo ogusoose.
Uganda Cranes egenda kuzannya ne Mali mu kisaawe kya Stade Du Mars e Bamako.
Oluvanyuma ejja kwolekera e Dubai okuzannya ne Zambia nga 17 October, mu kisaawe kya Hamriya stadium.
Omutendesi ow’ekiseera owa Uganda Cranes, Morley Byekwaso, atutte ttiimu y’abazannyi 24 okuzannya emipiira gino, ng’abazannyi abazannyira e mitala wa mayanja ttiimu bagenda kugyegattirako Mali.
Mali ekwata ekifo kya 49 mu kucanga endiba munsi yonna, Zambia ekwata ekifo kya 82 ate Uganda eri mu kifo kya 89 munsi yonna.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe