Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’emmwanyi mu Uganda ekya Uganda Coffee Development Authority UCDA, kiggadde ebyuma ebisuunsula emmwanyi mu bitundu bya Busoga, olw’omutindo gwazo ogubadde gweyongera okusereba.
Abasuubula emmwanyi nabo bayimiriziddwa okumala ennaku 45.
Akulembera abalimi b’emmwanyi mu kitundu kino elanga member wa UCDA Jamil Nzigu, agamba nti omutindo gw’emmwanyi gubadde guddiridde nnyo, nga n’abalimi babadde banoga mbisi ate nga bazaanika mu ttaka. #
Bisakiddwa: Kirabira Fred