Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwa president aka State House Anti Corruption Unit nga kali wamu ne police bakutte abadde ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu mu district ye Mityana nabakulu abalala abatuula ku kakiiko kano.
Akwatiddwa ye Dr. Lwasampijja Fred nga akwatiddwa ku bigambibwa nti emirimu abadde agiwa bantu be, saako okusaba ekyojamumiro okuva ku bantu ababadde basaba emirimu egyenjawulo.
Akwatiddwa n’abantu abalala okuli Ssabawandiisi w’akakiiko kano Mukiibi Hussein, saako eyali avunaanyizibwa kukulonddoola amasomero ga government Ssekibuule Andrew namyuka ssentebe wa kakiiko Anna Mariam Nassali.
Akakiiko ka Anti Corruption Unit kagamba nti bano babadde baleka abantu abalina obukugu obumala okukola emirimu ne bagiwa ababawadde ssente, wadde nga n’obuyigirize bwabwe bwakibogwe.
Abakulu mu Anti Corruption Unit batubuulidde nti bano bambega bakakiiko bamazze akaseera nga babalondoola, oluvanyuma lw’abamu ku bantu okuddukirayo era bwebafunye obujjulizi obumala ne bakwatibwa.#











