Ssentebe wa district ye Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika atabukidde abakozi abakozesebwa abebyokwerinda okubega bakozi banaabwe, kyagamba nti kireetawo obunkenke obuteetaagisa mu bakozi.
Bwanika okwogera bino asinziridde ku mukolo gwa district okuggalawo omwaka ogubadde Ku Kitinda lakeSide Beach Entebbe, nagamba nti ekisinga okuleeta obuzibu nti ate ebiseera ebisinga bawaayo amawulire agoobulimba.
Ssentebe Bwanika era asinzidde ku mukolo guno naalangirira mu butongole nga bwatagenda kudda kwesimba ku bwa ssentebe bwa district ye Wakiso kulonda okujja 2026 .
Agambye nti agenda kuvuganya ku bw’omubaka wa parliament owa Busiro South.
Ate ye Akulira ebyenjiguriza mu district ye wakiso Fredrick Kiyingi Kinobe asabye abakozi ba government okubaako kyebeekolera mu kiseera nga balina emirimu gya government.m okusinga okulindanga okuwummula nebalyoka balowooza okubaako kyebatandikawo okukola .
Nabisubi Cissy yalondeddwa NGA omukozi asinze okukola obulungi mu district ye Wakiso omwaka 2024.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo