Ssaabasumba w’esaza ekkulu ery’e Kampala Paul Ssemogerere yeyamye okutumbula omutindo gw’amatendekero ga Eklezia gonna gatuuke ku mutindo ogusaanidde okufulumya abayizi abeetagibwa mu kukola emirimu egituukiridde.
Ssaabasumba abadde alambula ettendekero lya Uganda Catholic Management and Training Institute e Lubaga n’avumirira enkola y’abazadde okwewanika ku masomero gebatasobola wamu n’okukaka abaana okusoma bye batasobola kukola.
Uganda Catholic Management and Training Institute lyatandikibwawo ekibiina kya bannadiini abasisiter ekya Grail mu 1956 nga liddukanyizibwa abasumba ba Eklezia Katolika aba Uganda Episcopal Conference okuva mu 1969.
Libangula n’okuzzaamu essuubi abavubuka mu Uganda n’ensi yonna.
Abamu ku bayizi CBS beyogeddeko nabo, nga bakulembeddwa Suzan Najjita amyuka akulira abayizi, bategezezza nti tebejjusa butagenda ku University kubanga wano bafuniddewo obukugu bwonna bwebeetaaga mu kukola emirimu ,naddala egy’emikono n’obwongo.
Bisakiddwa: Kakooza GeorgeWilliam