Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii asiimye musajjawe eyaliko Ssebwana Omugenzi Posiano Kawotto Jaweesa Ssengendo (Pk Ssengendo), olwÓbuwulize nÓkwagala ennyo eggwanga lye.
Obubaka bwa Masomooji busomeddwa omwami wÉssaza Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza.
Abadde ku mukolo ogw’okuziika PK Ssengendo e Kamuli mu gombolola ye Kakiri mu Ssaza Busiro, ogubaddeko nnamungi w’abantu.
Ssebwana Kisiriiza ku lulwe agambye nti omugenzi Owek PK Ssengendo abadde musuffu mu kutekateeka abakulembeze, era nga naye yeyamufuula kyali olwa leero.
Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Eng JB Walusimbi ategeezezza nti omugenzi abadde alafuubanira nnyo Obwenkanya n’Amazima.
Mungeri yeemu Katikkiro eyawummula Owek Dan Muliika asinzidde awo natendereza omugenzi olwokukubiriza Abantu ba Kabaka Okukuuma Ettaka.

Omumyuka asooka owa Ssebwaana Dr Grace Steven Sseruyange,omugenzi omwoogeddeko ga Omuntu abadde ayagaliza abantu ba Kabaka enkulaakulana eyannamaddala.
Ssentebe wa district ye Wakiso, Dr Matia Lwanga Bwanika, ayogedde mu mugenzi nga Omuntu abadde anyweerera ku kigambo kye.
Namwandu Jessy Christine Ssengendo, ayogedde ku bba ng’omuntu abadde ow’ekisa, ayagala ennyo Kabakawe nÓbwakabaka, era ng’akuzizza bulungi abaana.
Ssenkulu wa Radio CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe, ng’akiikiriddwa akulira ebibiina byÁbawuliriza ba CBS Godfrey Male Busuulwa , yeebazizza Omugenzi olwobuwagizi n’okukunga abantu okwettanira emirimu egikolebwa Radio ya Kabaka.
Mu kusooka wabaddewo ekitambiro kya misa ekikulembeddwamu Omubaka wa Paapa eyawumula Ssaabasumba Dr. Augustine Kasujja ngayambibwako Msgr Francis Xevia Mpanga, Rev Fr Prof. JC Maviiri, Rev Fr Cyrus Kikulwe omukulu we kigo ky Kiziba, Msgr Kanyike owa Kyengera nabalala bangi, era bategeezezza nti omugenzi bonna bamubaddeko akakwate, abamu yasoma nabo nga mikwanogye.
Omugenzsi afiiridde ku nyaka 85 era alese baana nÁbazukulu.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe













