Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okusimbula abaddusi abagenda okwetaba mu kudduka emisinde gy’amazaalibwa ge mu Lubiri e Mengo Ku Sunday eno nga 12 April,2026.
Byanjuddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abadde ku Mbuga enkulu ey’Obwakabaka mu Bulange e Mengo.
Katikkiro abadde asisinkanye kampuni n’ebitongole ebyenjawulo ebikiise embuga okugula emijoozi egigenda okuddukibwamu emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.
Katikkiro era asabye abawala n’abakyala okwewala okwetaba mu bikolwa by’omukwano n’abasajja abatasoose kwekebeza kawuka kaleeta mukenenya.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yeebazizza Kabaka olwokutumbula ebyobulamu bya Banna Uganda, nga bino bibadde mu bubaka obumusomeddwa omuwabuziwe ku nsonga za Buganda Ssaava Joseph, era aguze n’emijoozi gya Bukadde bwa shs 20.
Ebitongole ne company ezenjawulo eziguze emijoozi zebazizza Kabaka olw’okusitula embeera z’abantu be.
Mu ngeri yeemu minister wa Buganda owebyobuwangwa n’ennono Dr. Anthony Wamala asabye abaana okwewala okusosola bannaabwe abalina akawuka akaleeta mukenenya, kubanga kiyinza okubaviirako okwetamwa okusoma.
Bino owekitiibwa Wamala abyogeredde Ku Bulange, bwabadde akwasa essomero lya Vashon Primary School Buwaate emijoozi gyebagenda okuddukiramu ku Sunday.
Ate ye omutandisi w’essomero Eryo Henry Tumwebaze yeeyamye okwongera okuwagira emirimu gy’embuga era naatendereza Ssaabasajja olwokulabira ewala.
Ebimu ku Bitongole ne Kampuni ezikiise Embuga kubaddeko URA, KCCA, UNOC, Uganda Police, Uganda Baati, steal and tube, Insurance regulatory Authority, Roofings, UEDCL, Jesa diary farm, National water and sewerage cooperation, UCC, Plascon naabalala.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus












