• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabasajja Kabaka aggaddewo omwaka 2025 naggulawo 2026 mu Nkuuka Bwaguuga eyetabyemu Nasiisi w’omuntu

Ssaabasajja Kabaka aggaddewo omwaka 2025 naggulawo 2026 mu Nkuuka Bwaguuga eyetabyemu Nasiisi w’omuntu

January 4, 2026
Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi

February 16, 2026
Police ekutte abantu 5 abateeberezebwa okubbisa emmundu – kigambibwa beebatta eyali ekulira police e Ntaawo Mukono

Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga

February 16, 2026

Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa

February 16, 2026
Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa

February 16, 2026
Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

February 14, 2026
Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

Katikkiro alabudde abalowooza nti omukwano nsimbi – abadde ku mukolo gw’omwami Andrew Francis Luyombo n’omuk.Solomy Nassejje nga bajaguza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu

February 14, 2026
Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

Abayizi ebitundu 99.7% baayise ebigezo bya S.4 ebya UNEB 2025

February 13, 2026
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo ebirabo eri ebitongole byabwo ebyasiinga okukola obulungi emirimu mu 2025 – CBS eweereddwa ekirabo ekisukkulumye

February 12, 2026

Okusunsula abayizi abagenda okusoma S.1 kutandise – minister Muyingo alabudde amasomero agatunda ebifo

February 12, 2026
Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba alondeddwa okuduumira enkambi ye Kasijjagirwa – azze mu bigere bya Brig.Gen.Deus Sande eyafudde ekibwatukira

Brig.Gen. Jackson Pande Kajuba alondeddwa okuduumira enkambi ye Kasijjagirwa – azze mu bigere bya Brig.Gen.Deus Sande eyafudde ekibwatukira

February 12, 2026

General Court Martial resumes Work after a one year Suspension

February 12, 2026
Abaali abakozi b’ekitongole ki Uganda Posta and Telecommunications Corporation ekyasattululwa mu 1997 –  bakyabanja government

Abaali abakozi b’ekitongole ki Uganda Posta and Telecommunications Corporation ekyasattululwa mu 1997 – bakyabanja government

February 12, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Ssaabasajja Kabaka aggaddewo omwaka 2025 naggulawo 2026 mu Nkuuka Bwaguuga eyetabyemu Nasiisi w’omuntu

by Namubiru Juliet
January 4, 2026
in BUGANDA
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka aggaddewo omwaka 2025 naggulawo 2026 mu Nkuuka Bwaguuga eyetabyemu Nasiisi w’omuntu
0
SHARES
62
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naggulawo Omwaka 2026, nga ali wamu n’Abantube mu Lubiri e Mengo, mu Nkuuka Bwaguuga 2025 ekubyeko bugule.

Ssaabasajja asiimye abantu be Bonna olwÓkuwagira nga Enkuuka ya CBS, kuba yentabiro yÓmwoyo gwa Buganda Ogutafa.

Empologoma yebazizza Abamegganyi bonna abeetabye mu Ntanda ya Buganda,abantu baayo mwebavuganyiza mu Lulimi Oluganda,era neeragira Obumu obwooleseddwa bweyongere.

Liisolyampungu ajjukizza Obuganda nti Omuzungu weyajja mu Buganda yatendereza nnyo empisa n’ennono z’Abaganda n’obukulembeze bw’ebika n’olulimi ebyabalaga omutendera gw’obugunjufu Omuganda kweyali.

Kalemakansinjo alagidde bino okukuumibwa obutiribiri n’okubisomesa abaana kubanga byebizimba obumu n’obugunjufu.

Nnyininsi Musota agumizza Obuganda ne Uganda okusigala nga bali bumu mu buli mbeera.

“Tuddamu okubakubiriza okusigala nga muli bavumu mu buli mbeera yonna n’okujjukira nti; Okwegatta bwe buwanguzi bwaffe, temuggwamu ssuubi, kazigizigi gwe tulimu kaakati ajja kukyuka singa ffenna tusigala ku mulamwa.

Ssaabasajja  abadde wamu ne  Nnaabagereka Sylvia Najjinda omulangira Ssemakookiro n’omumbejja Katrina Ssangalyambogo, asiimye naatikkira Abazira mu Bazira ba CBS 2025 omubadde Busuulwa Joseph ow’Entanda Diaspora Omuzira mu Bazira owebweru era namukwaasa Ekyapa ky’Ettaka.

Oluvannyuma era Empologoma esiimye nekwasa Omuzira mu Bazira  Basajja Mivule John muzzukuku wa Mugema, era Ono naye akwaasiddwa Ekyaapa ky’Ettaka n’Obukadde 5, ng’ettaka lino MTN eritaddemu ensimbi.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Abantu ba Kabaka olwÓkuteeka nga mu nkola ebiragiro bya Nnyininsi omuli Okulwanyisa Mukenenya, Okulima Emwanyi nÉntekateeka endala ezizza Buganda ku Ntikko.

Ssenkulu wa Radio ya Kabaka CBS etegese Enkuuka Bwaguuga Omuk.Michael Kawooya Mwebe, ategeezezza Ssemunywa nti Obuwanguzi Radio ye bwonna bwezze etuukako buvudde ku mpeereza yaayo ennungi eri Eggwanga, ne bannamukago abawa essuubi.

Enkuuka yetabyeko Abalangira n’Abambejja, Katikkiro eyawummula Owek Joseph Mulwaanyammuli Ssemoogerere, ba Jjajja abataka abakulu b’Obusolya abakulembeddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwaabwe Namwama Augustine Kizito  ,Ssabaganzi Ssalongo Emmanuel Ssekitooleko, Ababaka ba Kabaka emitala wa Mayanja nÉbweru wa Buganda, ababaka ba parliament.

Enkuuka bwaguuga 2025 ewagiddwa MTN Uganda, MTN MOMO, Nature creates ventures, Movit, Nivana Water, Operation wealth creation, BBS Terefayina , CBS, NIRA abakoze ogwokuwandiisa Abantu okufuna Endagamuntu nÁbavujjirizi abalala bangi.

Abantu bÓmutanda bongedde okulaga Amaanyi bwebeyiye mu bungi mu Nkuuka Bwaguuga, era abantu ba Kabaka olubiri balwamuse nkeera nga  01 January,2026.

Bisakiddwa: Kato Denis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Emyaka 49 bukyanga Ssaabalabirizi Janan Luwum attibwa – president Museveni ayambalidde abakulembeze abatta abantu nti babeera batiitiizi
  • Police eyigga Taata agambibwa okutta omuvubuka gw’asanze ne muwala we ku lunaku lw’abagalana e Matugga
  • Abatendesi ba KCCA FC baweereddwa nsalesale wa mipiira 3 – bwegibalema okuwangula boolekedde okugobwa
  • Okujjukira Ssaabalabirizi Janaan Luwum – ekkanisa ya Uganda ekakasizza nti yafunye ekyapa ku ttaka kweyaziikibwa
  • Omutindo gw’abayizi abasomesebwa mu nsoma empya gwakwongera okulinnya – abayita ebigezo bya UNEB aba S.4 beyongeddeko obungi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist