Ssaabalamuzi wa Uganda Alfonse Owiny Dollo akiise embuga ku Bulange e Mengo, okwetondera Ssaabasajja Kabaka, olwébigambo bye yayogera ebivvoola Nnamulondo.
Ssabalamuzi atuuse ku Bulange e Mengo ku ssaawa 4 nékitundu, ng’awerekeddwako eyaliko president wa UPC ambassador Olala Otunu, Ralph Ochan, Peter Okwera n’abalala.
Ensisinkano eno yetabiddwamu bannaddiini okuva mu kibiina ekitaba enzikiriza ekya Inter Religious Council of Uganda abakulembeddwamu ssentebe wabwe Dr. Samuel Kazimba Mugalu, omusumba wa Kiyinda Mityana Dr. Joseph Anthony Zziwa ate era nga ye Ssentebe wabepisikoopi, omusumba Joshua Lwere, ssaabalabirizi wabadivent eyawummula Pastor Dr. John Kakembo Ssensalire n’abalala.
Ssaabalamuzi ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nómumyukawe Owek Dr. Twaha Kawaase Kigongo, omukubiriza wólukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule ne minister wémirimu gyénkizo Owek. Daudi Mpanga.
Omusumba Dr Joseph Anthony Zziwa yasomye essaala egguddewo ensisinkano eno.
Wabaddewo obufubo bwa mirundi ebiri n’ensisinkano ya mulundi gumu, eno yekkiriziddwamu bannamawulire.
Mu nsisinkano eno Katikkiro Mayiga ajulizza enjogera egamba nti “omukwano guva mu ngabo”, nti bwatyo Ssaabalamuzi okukola ensobi n’agikkiriza era najja neyetonda, kikolwa kya bugunjufu,kyabuntu, era tekirina wekiragira bunafu alaze nti musajja muvumu.
“Njagala okwebaza Ssaabalamuzi okubeera omwetowaze, kubanga obolyawo ffe twandibadde tugenda gyali olw’ekifo kyalimu, ng’abadde asobola n’okwogera nti mujje twogeremu,naye bwaba yasazeewo okwetowaza najja kikolwa kirungi kya bugunjufu ddala. Ssaabalamuzi nkwebaza olw’obuvumu obwo. ’’.
Katikkiro agambye nti abantu bangi bulijjo bakola ensobi mu bikolwa ne mu bigambo, naye abasinga tebatera kuvaayo kwetonda.
‘‘Ekikolwa kya Ssaabalamuzi kibeera kyakuyiga eri abantu bonna naddala abakulembeze”
Ssaabalamuzi Owiny Ddolo mu kwetonda kwe, yebazizza Obwakabaka okumukkiriza okujja okwetonda, era n’ategeeza nti musanyufu nti azze mu mirembe era addayo gyavudde mu mirembe.
Agambye nti alina okukkiriza nti buli nsonga zisobola okugonjoolwa mu bukakkamu, era ensisinkano ya leero nti ebadde n’amakulu mangi. (kino akizzeemu emirundi ebiri)
Ebigambo ebisitudde Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo yabyogerera mu maka g’omugenzi Jacob Oulanyah e Muyenga, nga 22 march,2022 mu kiro,wakati mu bakungubazi abaali bakuƞaanidde mu maka omwo.
Dollo yali ayogera ku bannauganda abeekalakaasa mu America nga bawakanya ekyókusaasaanya ensimbi zómuwi wómusolo okupangisa ennyonyi okutwala Jacob Oulanyah okujjanjabwa mu malwaliro geeyo.
Abekalakaasi baali bakutte ebipande ebisaba government okutereeza eby’obujanjabi mu Uganda, okussa eddagala mu mwaliro, okusitula omutindo gw’amalwaliro, abakungu ba government babeere nga tebaddusibwa mu malwaliro g’ebweru.
Mu kwogera kwa Ssaabalamuzi Dollo yayongerako nti “omukulembeze wammwe owénnono (gwataaayatula mannya) bweyatwalibwa e Germany mu nnyonyi yóbwa president, nebamusaasaanyizaako ensimbi zómuwi wómusolo nga temwekalakaasa”, Neyebuuza nti abekalakaasa ku lwa Jacob Oulanyah bakikola lwakuba mucholi!
(Weyayogerera bino, waali wakayita emyezi mitono nga Ssaabasajja Kabaka agenzeeko e Germany okujanjabibwa).
Ebigambo bya Ssaabalamuzi byaviirako abantu abamu okusikuuka emmeeme, nga bagamba nti byandibadde tebyogerebwa mu kiseera kino ekyókukungubagira eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah, nti era bisiga obukyayi nókusosola mu mawanga, songa Jacob Oulanyah abadde mugatta bantu.
Era Oluvannyuma Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bweyali awa obubaka bw’okukungubagira Jacob Oulanyah, yategeeza eggwanga nti ennyonyi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyeyatambuliramu mu August wa 2021, ngágenda e Germany okufuna obujjanjabi yali ya kampuni ya KLM, sso ssi ya president nga Ssaabalamuzi bweyayogera.