Rev. Canon Godfrey Kasana alondeddwa ngómulabiri omuggya agenda okukulembera obulabirizi bw’e Luweero, ngádda mu bigere bya Rt Rev Eldad Nsubuga agenda okuwummula obuweereza.
Rev. Canon Godfrey Kasana wakutuuzibwa nga 16 july,2023, ku lutikko ya St. Makko e Luweero.
Canon Kasana yazaalibwa nga 11th January 1971 ku kyalo Sekamuli, mu muluka gwe Wabiyinja mu ggombolola ye Bamunaanika mu district ye Luweero, era yayatula obulokozi nga 17th September 1996.
Canon Kasana alina degree mu byéddiini okuva mu Uganda Christianity University mu 2009 ne Master of Arts mu byenkulakulana gyeyafunira ku ssetendekero wa Ndejje.
Yayawulibwa mu 2009 era yafuulibwa Canon mu lutikko ya St. Mark’s Cathedral e Luweero mu 2020, oluvanyuma nagendako ku buwereza e Bungereza n’amawanga amalala aga Bulaaya, India, ne South Africa, okutuusa lweyakomawo kuno naDdamu obuwEereza bw’ekkanisa mu Bulabirizi bw’e Luweero, ngawerezza mu bifo ebyenjawulo.
Canon Kasana mugatte neHarriet Kasana era balina abaana 7.
Mu ngeri yeemu Rev. Barnabas Tibaijuka alondeddwa ngómulabirizi asookedde ddala mu bulabirizi bwa West Rwenzori, ate ye wakutuuzibwa nga 27 August 2023, ku lutikko y’obulabirizi esangibwa mu district ye Bundibugyo.
Rev. Barnabas Tibaijuka yazaalibwa nga 8 May 1975 ku kyalo Butungama, mu district ye Bundibugyo, naayatula obulokozi nga 5th April 1994.
Rev. Barnabas alina Master’s degree okuva mu mountains of the Moon University, e Fort Portal mu 2016, ne degree mu byediini gyeyafunira ku Uganda Christian University Mukono, mu 2011.
Yayawulibwa ng’omudiinkoni mu mwaka gwa 2010, nafuUlibwa omwawule mu 2011 era abaddeko omukulu w’amasomero agenjawulo era omusomesa w’eDdiini omutendeke.
Akoleddeko mu bulabirizi bwa Rwenzori mu bifo ebyenjawulo okuva nga muvubuka era abadde ku kawefube wokukyusa bbayibuli mu lulimi olubwisi n’okusomesa mu ttendekero lya Bishop Balya College.
Yakeera okuwummula obuwereza bwa government ng’omusomesa naasalawo okudda mu buweereza bw’ekkanisa era okulondebwa abadde member wa Synod y’obulabirizi era omumyuka wa ssentebe w’olukiiko lwabaweereza ku bulabirizi bwe Rwenzori.
Rev. Barnabas kati omulabirizi asoose mu West Rwenzori mufumbo ne Alice Mbambu Tibaijuka era balina abaana abawala 2 abasoma ku mutendera gwa University.
Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, bwabadde ayogerako ne Cbs oluvanyuma lwokulondebwa kwabano agambye nti abakulisitaayo basaanidde okukolera awamu n’abaweereza abalondeddwa okutwala obuweereza bwa mukama mu maaso n’okuyimusa obulabirizi bwabwe.
Bisakiddwa: Davis Ddungu