Ampisaawo ke kayimba akapya, akakasabuukululwa Omuyimbi Rema Namakula.
Akayimba kano akatongolezza ku mukutu gwe ogwa YouTube.
Maama w’abaana ono amanyiddwa okuyimba obuyimba obuseneekerevu obw’omukwano.
Ku luno atulaze nti omutonzi atuyisa mu mbeera nnyingi, era kisa kyamukama atubikako obusubi n’atutuusa ku buwanguzi.
Rema ayimbye obuyimba bungi obukutteyo nga; Deep in love, juice wa mango, Ngonze, Bannyabo, Atuuse, Loco, mukyala doctor n’endala.
Bikungaanyiziddwa: Naluyange Kellen