Abasuubuzi basabiddwa obutapaaluusa miwendo gyabintu mu kaseera kano ng’abaddu ba Allah abasiiramu bagenda kutandika omwogezi omutukuvu ogwa Ramathan.
Essaawa yonna ba Director wa Sharia e Kibuli ne ku muzikiti gwa Old Kampala basuubira okulangirira mu butongole oba okusiiba kutandika enkya ku Saturday nga 01March,2025 singa omwezi guba gulabise, bwegutalabika bakusiiba ku Sunday.
Omwogezi w’ekibiina ky’abasuubuzi ekya KACITA Hajji Isa Ssekito asabye basuubuzi banne ,obutaseera bintu ng’obutunda, water melon, ennannansi ne birala,abasiibi basobole okubyetusaako mu kisiibo ekitandikidde mu mbeera y’obudde ey’ekibugumu ekisukkiridde n’omusana omungi.
Ssekitto ategezezza cbs nti ebintu ebyo bwepipaaluuka ebbeeyi oluusi biremesa abantu abamu okusiiba, kuba byesigamwako nnyo mukutambuza ekisiibo,kwekusaba abasubuzi mu ggwanga lyonna okubeeramu akobuntu.#