Omukulembeze wa South Korea Yoon Suk Yeol yeweze okufaafaagana n’abantu abaagala okumulemesa Entebe y’obwa president nga bamulanga okuyisa ekiragiro okufugira eggwanga lye ku nkola yekinamagye.
Yoon abadde omukambwe asinzidde ku Tv mukwogerako eri eggwanaga nagamba nti okuyisa ekiragiro kino yaali ataasa enfuga eya demokulasiya n’okulwanyisa obwa nakyemalira obwali buleetebwa abali ku ludda oluvuganya government ye.
Yoon suk yool owe myaka 63, akalambidde nti siwakudda bbali parliament nebwenayisa ekiteeso ekimuggyamu obwesige ku bwa president ku lwomukuaaga, agambye nti wakulwaana okutuuka kunkomerero.
President Yoon anonyerezebwaako ne banne kubigambibwa nti yayisa ekiragiro okufugira eggwanga ku nkola ye kinamagye, nga tasosose kwebuuza kubakwatibwako ensonga mu South Korea, wabula nga yateegeza nti amagye ga North Korea gaali gazeemu okutabaala eggwanga lye kwekusalawo okukola kino.
Bino bigyidde mu kiseera nga parliament eyisizza ekiteeso ekigoba saba police Cho Ji-ho saako minister w’obwenkanya mu South Karea Park Sung-jae era bano bafumuddwa mu yafeesi.