Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, aweze nti wakukulemberamu olutalo olwokulwanyisa obusosoze, obwavu n’okuggusa ebiruubirirwa by’abakyala mu Uganda.
President Museveni obubaka bwe abutisse omumyukawe, Rtd Maj Jessica Alupo, ku mukolo ogw’okukuza olunaku lw’abakyala ogubadde ku kisaawe ky’amefuga e Kololo.
Rtd.Maj.Jesca Alupo asoose kulambula nnyiriri z’abakuuma ddembe nga bonna bakyala, ezibadde ziduumirwa Lt.Col.Evelyne Asiimwe.

President Museveni agambye nti governmrnt ye eruubirira okuyambako abakyala mu by’enkulakulana era ssimwetegefu kulaba abazzaayo emabega era nti balina okuganyulwa mu nteekateeka zonna ezissibwa ku mwanjo.
Abawabudde nti wadde government efuba okubayambako, nabo nasaanidde okwenyigira mu pulojekiti ezenjawulo zetaddewo okweggya mu bwavu.
President Museveni era mu bubaka bwe ku mukolo guno, agambye nti abakyala balina okwongera okukwasizaako abaana abawala bajjumbire okusoma bwebaba bakubaako kyebatuukako mu nsi.
Minister w’ekikula ky’abantu Betty Amongi agambye nti wakyaliwo amateeka ageetaga okuyisibwa n’okuteekebwako emikono, kko nokukola ennongereza mugamu okutumbula embeera zaabakyala mu ggwanga.
Akulira ekibiina ky’amawanga amagatte mu Uganda, Leonard Zulu, asinzidde ku mukolo guno, najjukiza government ya Uganda okwongera okuteekawo enkola ezisoboesa abakyala okufuna eddembe lyabwe n’obwenkanya.
Ssentebe w’akakiiko akataba ebibiina byabakyala mu Uganda, aka Uganda Women’s Council, Hajat Faridah Kibowa, naye asabye government okwongera abakyala mu bifo ebyenkizo n’okubangulwa mu by’obukulembeze.
Bisakiddwa: Ddungu Davis












