President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, azzeemu okulabula amasomero ga government agalimu enkola eya bonna basome okukomya okusaba abazadde ebisale ebisukiridde nga geekwasa nti byakuyambako kusuza baana.
President Museveni okwogera bino abadde ayogerako eri eggwanga, wakati mu kwetegekera okukuza olunaku lwaamenunula agakuzibwa nga 26 January,, era ag’omwaka guno 2025 gagenda kukuzibwa mu district ye Mubende.
Agambye nti government ye efubye okutumbula ebyenjigiriza kyokka nti abantu abaagala okubiryamu bebeefunyiridde okubyonona.
Agambye nti mu lusoma olugenda okutandika tayagala kuwulira nti waliwo amasomero aga government agasasuza ensimbi empitirivu, nokusaba ensimbi ezeekisulo nti kuba kiviirako abazadde okukaluubirizibwa.
President agambye nti enkola zino zezimu ku ziviriddeko noomuwendo gw’abayizi abawanduka mu masomero okweyongera.
Mwami Museveni era agambye nti ku nsonga yeebyobulamu nayo government ye ejikwasizza maanyi era nti kaakano endwadde eziwera 14 zezigemebwa.
Agambye nti wakuteeka omukono ku kiragiro ekiyimiriza okutunda ebinyeebwa ebise, byagambye nti baakizudde nti nabyo biviiriddeko obuzibu mu kutambuza endwadde nga kookolo.
Mu ngeri yeemu President Museveni asekeredde abagamba nti government ya NRM, terina kyekoze mu myaka 39 gyekulemberedde eggwanga lino, sso nga bingi byetaddewo okuggya abantu mu bwavu.
President Museveni agambye nti emyaka 39 government ya NRM gyemaze mu buyinza, Uganda ekulakulanye kinene ddala, era nti 9neebyenfuna bisuubira okweyongera ne mu myaka ejijja ssinga abantu banaagoberera ebiragiro byabawa.
President Museveni agambye nti emirimu mingi ejitondeddwawo, pulojekiti zenkulakulana nnyingi ezireeteddwa nebirala.
Anokoddeyo ku nsonga yeebyobulimi noobulunzi, byagambye nti bikulidde ddala, amakolero n’ebirala ebikyusizza obulamu bw’abantu.
President Museveni mu kwogerakwe era agambye nti government gyakulembera yaakwongera amaanyi mu kuzimba amakolero, okwongera okuwa banna Uganda emirimu n’okutumbula enkulakulana mu ggwanga.#