President wa Uganda Gen. Yoweri Kaguta Museveni yebazizza bannauganda olw’okulonda ekibiina kya NRM kumpi ku bifo byonna okwetoloola eggwanga,agambye nti bannansi baalaze nti NRM yesobola okukulembera eggwanga lino.
President Museveni abadde Kabale ku mikolo gya UPDF egya Tarehe Sita, gyekulizza emyaka 45 okuva lweryatandikawo bweryali likyayitibwa NRA.
Museveni agambye nti amagye gaakoze ky’amanyi mu kukuuma emirembe mu kalulu, ne bannauganda nebamuyiira obululu.
Yawangudde akalulu k’obwapresident mu kisanvu ekyomusanvu, nga yafunye obululu obukadde 7 n’emitwalo 90, byebitundu 71.6%.
President agambye nti olunaku luno lubaddeko ebijaguzo bibiri; ekya Terehe Sita, n’ekya NRM okuwangula akalulu.
Mu ngeri yeemu president Museveni akinogaanyizza nti tewali muntu yenna asobola kutabangula mirembe mu ggwanga lino nti era abaali bagala okugezaako, UPDF yabaanguyira neyimiriza ebikolwa byabwe ebikyamu
Agambye nti banna Uganda bagenda kugagawalira mu nsi yabwe singa banagoberera ebibagambibwa government.
Omuddumizi w’amagye ge ggwanga Gen Muhoozi Kainerugaba ayozayozeza omukulembeze we ggwanga Gen Museveni olw’okutuuka ku buwanguuzi mu kalulu akaabaddewo.
Gen.Muhoozi agambye nti kuno kwekulonda okukyasinzeeze okubeera okw’emirembe bukyanga kulonda kubaawo, era nti banna Uganda bayongedde okulaga President Museveni nti bakyamwetaaga nnyo okusinziira ku kalulu kebamuyiiridde.
Gen Muhoozi agambye nti ebyokwerinda mu buli nsonda ya ggwanga ebyokwerinda binywevu era abagala okutabangula ebyokwerinda mu ggwanga bakukolwako ng’amateeka bwegalagira, era nga nabamu nti mu makomera gyebakuumirwa.
Abasirikale abenjawulo ku mukolo guno baweredwa emidaali egyibasiima okukolera eggwanga lino.#












