President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni yeweredde abalyaake nti ekiseera kyabwe kiweddeyo, tagenda kuddamu kubaleka kulya butaala agenda kubafefeta bonna gyebali bakangavvulwe.
Museveni agambye nti abazira abaalwanirira eggwanga lino okubeera weriri kati, nabo gyebali bajja kubeera basanyufu singa abantu abagezaako okulidibaga nga balya enguzi n’okubba ensimbi z’omuwi womusolo bakangavvulwa.
Museveni era yeweredde abantu abatemula bannaabwe, n’abalyake nti omukono ogulina okubakolako gugenda kubeera mukambwe, era ssi musanyufu nekyokuyimbula abantu abo ku kakalu ka kooti, nti balina kusigala mu kkomera okutuusa ng’emisango gyabwe gikomekkerezeddwa.
President agambye nti bwekiba kyetaagisa kukozesa nkola yakiyeekera NRM gyeyakolangamu okulwanyisa empisa empi mu bantu baayo mu nsiko, agenda kugikomyaawo okulwanyisa emize egifuukidde eggwanga lino ekizibu.
Mu ngeri yeemu azeemu okukinogaanya nti ensimbi ezinaava mu mafuta government zesuubira okutandiika okunoga, zakusaasaanyizibwa ku bintu ebikulakulanya eggwanga.
Anokoddeyo ng’okuzimba enguudo, amalwaliro, amasomero, amabibiro g’amasanyalaze, ebisaawe byemipiira n’emirimu egigasiza awamu abantu sso ssi zakulya nokusasula emisaala.
Agambye nti government ya NRM nga yekyaali mu buyinza ssi yakukkiriza kuddamu kwewola, nti kubanga ensimbi ezinaava mu mafuta ziggya kuba zimala okukola ku bizibu bya Uganda.
President Miseveni agambye nti eggwanga okukulakulana essira lisaanye liteekebwe nnyo ku kutereeza ebyentambula naddala okutereeza entambula y’eggaali y’omukka okusaabaza abantu n’ebyamaguzi, okulima okutambulira ku kufukirira, n’okwongera omutindo kubirimiddwa.
Museveni agambye nti n’okuzimba omuddumu gw’amafuta nakyo kikulu nnyo era bigenda kuwanirira nnyo ebyenfuna byeggwanga.#