President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa agambye nti ebitongole bya government ebitalina nsimbi zebiyingiza mu ggwanika ly’eggwanga ,bibadde bitwaala ensimbizomuwi w’omusolo eziri mu trillion 2 n’obuwumbi 200 okubiyimirizaawo buli mwaka, okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa General Salim Saleh.
President Museveni mu kiwandiiko kye ekikwaata ku nteekateeka government gyeriko okugatta ebitongole byayo naddala okuli ki UNRA, UCDA, nebirala, agambye nti mu mwaka 2017, Gen Saleh n’abakugu abalala baakola okunonyereza nebakizuula nti ebitongole ebitalina nsimbi zebizza mu ggwanika ly’eggwanga ,government buli mwaka ebisaasaanyako ensimbi trillion 2 nobuwumbi 200 zino nga nnyingi nnyo eri eggwaanga.
Museveni anyonyidde nti okunonyereza kuno government ye kweyasinziira nesalawo ebitongole ebitalina nsimbi zebizza mu ggwanika bigattibwe, ebirala biveewo obuvunaanyizibwa butwaalibwe mu ministry.
Agambye nti ensimbi mpitirivu ezibadde zigenda mu bitongole ebyo nga UCDA, NAADS, Diary Development Authority, UNRA nebirala zibadde zigenda mu kusasula emisaala nebirala wabula nga n’emirimu gyebakola tegirabika.
Museveni awadde ekyokulabirako eky’ekitongole ki UNRA kyagambye nti ogwakyo gubadde gwakugaba contract eri ba kontulakita, wabula ng’ensimbi mpitirivu ezibadde zisaasaanyizibwa ku kitongole kino.
Anyonyodde nti okuggyawo ekitongole ki UCDA, tekigenda kuggyawo buvunaanyizibwa ekitongole kino bwekibadde nakyo, obuvunanyizibwa obwo bugenda kutwaalibwa mu ministry y’ebyobulimi n’obulunzi nga bwekiba kyakulondoola omutindo gwemwaanyi, ekitongole ky’eggwanga ekirondoola omutindo ki UNBS wekiri
Bwekiba kyakuyamba abalimi b’emmwaanyi, Museveni agambye nti abakugu ababadde mu kitongole ki UCDA, bagenda kutwalibwa mu ministry y’ebyobulimi basigale nga bakola emirimu egyo.
Agambye nti government ye ekooye okusaasaanya obutitimbe bw’ensimbi ku ba memba ba Boodi z’ebitongole ebyo ebitazza magoba eri ggwanga.
Museveni agambye nti ebitongole byokka government byegenda okusigazaawo byeebyo ebirina ensimbi zebiyingiza mu ggwanika ly’eggwanga sso SSI ebinyuunyuunta eggwanika.
Anokoddeyo ebitongole okuli ekya NAtional Enterprise cooperation ekyamaggye ,National housing Corporation, Uganda Development cooperation, Uganda National Electricity company limited nebirala
President Museveni agambye nti ekimala kimala, government ye ekooye ebitongole nabakozi baabyo abanyuunyuusi#











