Club ya Police egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, efuumudde abadde omutendesi waayo Simon Peter Mugerwa, nga bamulanga olw’omutindo gwa club eno ogukyagaanye okweyongerako.
Simon Peter Mugerwa agobeddwa mu kiseera nga Police yakamala okukubwa Bright Stars goolo 3-1 mu Uganda Premier League.
Police egirese mu kifo kya 12 mu liigi n’obubonero 23, era ttiimu yagiyambyeko okutuuka ku mutendera gwa quarterfinal mu Stanbic Uganda Cup.
Kitegerekese nti Police FC kati eri mu kwogereza Matia Lule okudda mu bigere bya Simon Peter Mugerwa.
Omutendesi Simon Peter Mugerwa ajjukirwa nnyo okusuumuusa club ya Police okuva mu kibinja kyawansi season ewedde, era mu liigi season eno awangulidde Police emipiira 4, amaliri emipiira 11 nakubwa emipiira 7.
Ajjukirwa n’okuwangulira amasaza Bulemeezi ne Busiro ekikopo kya Masaza mu 2019 ne 2022.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe