• Latest
  • Trending
  • All
Mubarak Munyagwa ne banne bavunaaniddwa ogw’okwekobaana okuzza emisango – bayimbuddwa ku kakalu ka kooti

Police eyimirizza abasirikale baayo 13 ku mirimu – byakulumba maka ga Sheik Kamoga

June 12, 2023
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Enkuba esudde eklezia e Mubende – abantu 8 bakoseddwa nebaddusibwa mu ddwaliro

May 29, 2025
Police etandise okunoonyereza ku kigambibwa okuba bbomu ekubye amaka g’omutuuze e Kirinnya Bweyogerere – abantu 6 bafiiriddemu

Police etandise okunoonyereza ku kigambibwa okuba bbomu ekubye amaka g’omutuuze e Kirinnya Bweyogerere – abantu 6 bafiiriddemu

May 29, 2025
Enguudo 3 ezigenda okukubwako kkolaasi mu district ye Mpigi  zitongozeddwa – zakuwemmenta obuwumbi bwa shs 172

Enguudo 3 ezigenda okukubwako kkolaasi mu district ye Mpigi zitongozeddwa – zakuwemmenta obuwumbi bwa shs 172

May 29, 2025
Enseenene ne Ndiga besozze semifinal y’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025

Enseenene ne Ndiga besozze semifinal y’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025

May 28, 2025
Abantu 3 bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lw’e Mityana – emmotoka zitomereganidde e Bujuuko

Emmotoka etomedde abaana nga bava ku ssomero e Namungoona – omu afiiriddewo

May 28, 2025
Okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku nnaku z’abawala ez’akasanvu – government efulumizza ennambika empya

Okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku nnaku z’abawala ez’akasanvu – government efulumizza ennambika empya

May 28, 2025
Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders

Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders

May 28, 2025
Bannauganda bangi abanyigirizibwa nebasirika – alipoota ya National Coalition of Human Rights Defenders

Uganda ekoze endagaano ne Belgium okutumbula omulimu gw’eby’obulambuzi n’ebyemikono

May 28, 2025

Engabi Ensamba esisinkanye Engabi Ennyunga ku Quarterfinal z’omupiira gw’ebika by’Abaganda 2025

May 28, 2025
Omuliro gusaanyizzaawo ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya Shida Aisha orphanage Centre e Iganga

Omuliro gusaanyizzaawo ekisulo ky’abayizi ku ssomero lya Shida Aisha orphanage Centre e Iganga

May 27, 2025

UPDF ekalambidde ku ky’okusazaamu enkolagana yaayo ne Germany – erumiriza Ambassador Mathias Schauer okukuta n’obubinja obusekeeterera government ya Uganda

May 27, 2025
Cameroon erangiridde ttiimu egenda okuzannya ogw’omukwano ne Uganda Cranes

Cameroon erangiridde ttiimu egenda okuzannya ogw’omukwano ne Uganda Cranes

May 27, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Police eyimirizza abasirikale baayo 13 ku mirimu – byakulumba maka ga Sheik Kamoga

by Namubiru Juliet
June 12, 2023
in Amawulire
0 0
0
Mubarak Munyagwa ne banne bavunaaniddwa ogw’okwekobaana okuzza emisango – bayimbuddwa ku kakalu ka kooti
0
SHARES
113
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abasirikale ba police 13 kw’abo abaali mu kabinja k’abasirikale okuva mu bitongole ebikuuma ddembe ebyenjawulo ebyazingako amaka ga Sheik Yunus Kamoga agasangibwa e Kawempe Ttula mu ggombolole ye Kawempe bayimiriziddwa ku mirimu , bakuvunaanibwa emisango egyekuusa ku bisiwufu.

Waliwo akatambi akaafulumizibwa akalaga abasirikale bano nga  batulugunya abamu ku bantu bebasanga mu maka ga sheik Kamoga.

Akatambi kalaga  abasirikale nga bawewenyula emiggo abavubuka bebaasangayo, okubakuba ensambaggere, n’okubalagira okwewalula mu ttaka ekintu ekyavumirirwa  ebitongole ebirwanirira eddembe ly’obuntu.

Gyebuvuddeko ebitongole ebikuuma ddembe ebirwanyisa obutujju okuli aba JATT ne CMI baazingako amaka ga Sheik Yunus Kamoga oluvanyuma lw’abamu ku bazadde okwemulugunya, nti abaana babwe batwalibwa mu maka gano nga tebatezegeddwako.

Fred Enanga ayogerera policeya Uganda agambye  nti newankubadde abasirikale bano tebaamenya mateeka bwebaali bayingira mu maka ga Sheik Yunus Kamoga, nti naye kyali kikyamu abasirikale babwe okusiwuuka empisa okukuba abantu era bagenda kuvunanibwa mu kkooti ya police ku lwokusattu lwa wiiki eno.

Wabula Fred Enanga ategezezza nti okuzingaako amaka ga Sheik Yunus Kamoga tekitegeeza nti ebitongole ebikuuma ddembe bitulugunya abasiraamu, naye kigendereddwamu okulwanyisa ebikolwa ebyekuusa ku butujju.

Agambye nti kino kyesigamizibwa ku ky’okuba nti mu maka ga Sheik Kamoga wasangibwayo abantu 45 abaali bava mu mawanga agenjawulo okuli Rwanda ne Democratic Republic  Congo, era nga Sheik anonyerezebwako ku misango egyekuusa ku kukusa abantu.

Ku bantu bano 45 abaasangibwa mu maka ga Sheik Kamoga, 17 ku bbo baziddwayo mu benganda zabwe.

Fred Enanga ategezeza nti bagala Sheik Yunusu Kamoga anyonyole kweyasinziira okukuumira abaana mu maka ge nga bazadde be tebamanyi, wabula n’okutuusa kati tanagendayo kukola sitatimenti wadde nga yayitibwa.

Gyebuvuddeko Sheik Kamoga yatuuza olukungaana lw’amawulire mweyategeereza nti ekifo ekyo mwebaasanga abantu abo nga bonna bavubuka, kirabirira abantu abetaaga okubudaabudibwa ku nsonga ez’enjawulo, era nti  omulimu guno agukoledde ebbanga lya myaka egisoba mu 40.

Bisakiddwa:  Mukasa Dodovico

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Enkuba esudde eklezia e Mubende – abantu 8 bakoseddwa nebaddusibwa mu ddwaliro
  • Police etandise okunoonyereza ku kigambibwa okuba bbomu ekubye amaka g’omutuuze e Kirinnya Bweyogerere – abantu 6 bafiiriddemu
  • Enguudo 3 ezigenda okukubwako kkolaasi mu district ye Mpigi zitongozeddwa – zakuwemmenta obuwumbi bwa shs 172
  • Enseenene ne Ndiga besozze semifinal y’emipiira gy’ebika bya Baganda 2025
  • Emmotoka etomedde abaana nga bava ku ssomero e Namungoona – omu afiiriddewo

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -