Police e Naggalama ekubye abantu 2 amasasi nebafiirawo, nga kigambibwa nti babadde babbye ente.
Ababiri bano abatannamanyika mannya babattidde mu Kabuga ke Nakasajja mu kiro , nga police egamba nti babadde n’ente 3 zebabadde batambuliza mu mmotoka Toyota Prado No. UAZ 797G.
Kigambibwa nti police ye Naggalama ebadde erawuna kkubo mu kiro kwekuyimiriza emmotoka eno oluvannyuma lw’okugyekengera, kyokka omugoba waayo nagaana okusiba ekiddiridde kubadde kugigoba.
Kizuuse nti mu Mmotoka eno mubaddemu abantu bana, era police olutandise okubagoba nemufubutuukamu abasajja babiri nebadduka, olwo ababiri abasigaddemu Amasasi negabakwata, bafudde baddusibwa mu ddwaliro okufuna obujjanjabi.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiraano Luke Oweyisigire ategeezezza nti emirambo gy’Abattiddwa gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago, ng’okunoonyereza ku bannyini nte bwekugenda mu Maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis