Police e Nsangi mu Wakiso eriko enunudde abavubuka 47, nga kigambibwa nti babadde bateekateeka kukukusibwa okutwalibwa mu Mawanga gebweru bakube ekyeyo.
Abavubuka bano abali wakati w’Emyaka 16 n’emyaka 30, kigambibwa baggyiddwa mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo omuli Bushenyi, Mityana, Mbarara, Kabaale, Ntungamo ne Busoga.
Bategeezezza police nti babadde basomeseddwa ebikwata ku by’ensimbi, era nga babanguddwa ne ku ngeri y’Okutundira ebyamaguzi ku mitimbagano.
Police etegeezezza nti abavubuka bano babadde bakuηaanyizibwa Kampuni emanyiddwa nga Dream Vissionaries, ekolera wansi w’Ekitongole ki Alliance in Motion Global, era nga buli omu abadde asooka Kusasula emitwalo shs 150,000.
Police era ezudde nti abavubuka bano oluvannyuma lw’okutuusibwa e Nsangi ,bakama baabwe baabaggyako essimu zabwe okumala wiiki namba, oluvannyuma bannyini kampuni zino nebatandika okukaka abavubuka okukubira bakadde baabwe, nga babaagaza akakadde kamu n’Ekitundu (1,500,000), nti zikole ng’entandikwa y’okukola business gye batamanyi bijikwatako.
Omwogezi wa police mu Kampala n’Emiriraano Rachael Kawala ,agambye nti bali ku muyiggo gwa nnyini Kampuni ya Alliance in Motion Global abeeko byannyonnyola.
Bisakiddwa:KatoDenis












