Police ekutte abantu 4 ku bigambibwa nti baateega emmotoka ya taxi ku mudumu gwemmundu, nebanyaga abaali batambuliramu emitwalo gya dollar za America egisoba 30, kekawumbi ka shilling nga 1 n’obukadde obusoba mu 100.
Abakwatte y’e Lubega Moses ,Nowagaba Josephat, Omusirikale wa police eyali OC we Namayingo Kakaana James ne Kyomuhendo Richard.
Kigambibwa nti abakwate baali batambulira mu mmotoka No. UBW 187W kika kya super custom nendala No. UBN 291 subaru, era nti baalina ne basitoola.
Omulungamya w’ebyobufuzi mu police Namutebi Hadijjah asinzidde ku kitebe kya police e Naggulu nategeeza nti abakwate bakutwalibwa mu mbuga z’amateeka bavunaanibwe.#