Police ekutte abavubuka 4 abagambibwa nti babadde bakozesa erinnya lya muwala w’omukulembeze we ggwanga Natasha Karugire Museveni ne banyagako abantu ssente mu bumenyi bwa mateeka, nga bakozesa emitimbagano.
Abakwatiddwa bagiddwa mu bitundu bya Iganga okuli Mulondo Rauman, Isabirye Aashiraf ,Egesa Sharifu ne Kakayire Zubair.
Okusinzira ku police bano basangiddwa ne layini z’essimu eziwerako zebabadde bakozesa okunyagako abantu ssente.
Kigambibwa nti bano babadde bakozesa ekifaananyi kya muwala w’omukulembeze we ggwanga Natasha ne baggya ku bantu ssente nga bakozesa omutimbagano gwa Tiktok ne whatsup.
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma abulidde bannamawulire ku kitebe kya police e Naguru nti bano bagenda kuggulwako emisango egiwerako, wabula nalabula abantu okubeera abegendereza ku bantu beboogeera nabo ku mitimbagano naddala ensonga nga zirimu ssente.
Police era ekutte abantu abasukka mu 90 okuva mu municipali ye Kira, ku bigambibwa nti babadde benyigira mu bumenyi bwa mateeka mu bitundu bino.
Kigambibwa nti babadde bateega abantu ku makuubo naddala mu kalipagano k’ebidduka olwo ne banyaga ebintu byabwe.#













