Police mu Kampala n’emiriraano ekoze ekikwekweto mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo mwekwatidde abantu abasukka mu 24 ku bigambibwa nti babadde benyigira mu bumenyi bw’amateeka ku luguddo lwa Northern byPass .
Ekikwekweto kino kikulembeddwamu police ya Kira road, Jinja road ne Kajjansi era kikoleddwa mu bitundu okuli Balintuma zone, Kiwatule,Nakawa division ne mu Kampala wakati.
Abakwatiddwa mu kiwekweto kino ye Sakii Arafat, Okot Sam, Tumukwase Joel, Bamwine Edward,Kironde Ramathan, Tumuhimbe Erias, Ssebugwawo Ashraf, Nabikora Edmond nabalala.
Police era etegezezza nti obumenyi bw’amateeka bubadde buyitiridde mu bitundu okuli Nakigalala, Kifene, Lweza A ne B, Kawotto B,Makandwa ne Kijapan nga byonna biri mu Kajjansi, ng’a abantu basula kutebukye.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu kiseera kino ng’ebikujju by’ennaku enkulu bisembedde.#