Police ya Uganda efulumizza alipota ekwata ku buzzi bw’emisango obwakolebwa mu mwaka 2025, eraze nti waaliwo okukendera mu bumenyi bwa mateeka n’e bitundu 10.2 %. obutafananako nga bwegwali mu mwaka 2024, webweriisa enkuuli.
Police egamba nti mu 2025 baafunye emisango emitwalo 196,405 sso nga mu mwaka 2024, bawandisa emisango 218,715, ku police ezenjawulo mu ggwanga.
Alipoota eraze nti abantu 99,004 be bakwatiddwa omwaka 2025 , nga kwaliko abasajja 89,511 sso nga 6,185 baali bakyala , 2,908 baana balenzi abato ate 400 baali bawala.
Okusinziira ku alipoota eno, emisango 31,732 abantu abagyenyigiramu gyabasinga oluvanyuma lwokutwalibwa mu mbuga z’amateeka, 11,340 gyagobwa ate emisango 54,688 gikyanoonyerezebwako n’okutuusa kati.
Alipota eraze nti emisango 2,240 gyekuusa ku biragalalagala, egyo obutabanguko mu maka police yafuna emisango 4,238, egikwata ku bubbi giri 7,863, sso nga egyekuusa kwonoona ebintu (malicious damage) gyali 7,992, egikwata ku kulinnyirira eddembe ly’abaana gyali 8,064.
Emisango egy’okukaka abantu omukwano omwaka 2025 gyali 12,606 nga gikola ebitundu 6.4%, sso nga egy’obutabanguko mu maka gibadde 12,361, ate egy’obulyake n’obulyi bw’enguzi police yawandiisa emisango 11,548 ng’eraze nti gino gikendeddeko.
Alipoota erambise nti emisango egy’okukwata ku byobufuzi yafuna 800, sso nga mu mwaka 2024 gyali 105, wabula egamba nti wadde gyeyongeddeko, nti naye akalulu akabaddewo aka 2026 kekakyasinze okubeera ak’emirembe.
Bwabadde atongoza alipota eno ku kitebe kya police e Nagguru, Ssaabadduumizi wa police Abbas Byakagaba agambye, nti enkola y’okuzza police ku magombolola ebayambye okukendeeza ku buzzi bw’emisango.
Abbas Byakagaba ategeezezza nti okukolera awamu ng’ebitongole by’okwerinda nga bali wamu ne bannansi kyanguyizza omulimu gwabwe, era asuubizza bannauganda nti bakwongera okubakuuma n’e byabwe.#











