Parliament etaddewo olutuula olwenjawulo okukungubagira n’okusiima emirimu egyakolebwa omugenzi Owek Joyce Rovincer Mpanga.
Ekiwandiiko ekivudde mu Offiisi ya kalaani wa parliament ekiteereddwako omukono gwa Kalaani yennyini Adolf Mwesige, kiraze nti omulambo gutuusibwa ku ssaawa nnya ezokumakya, olwo parliament etuule ku ssaawa munaana okujjukira ebirungi byeyakolera eggwanga.
Owek.Joyce Mpanga abadde mubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu lukiiko lwa Buganda, ajjukirwako ebirungi bingi era ebyamufuula omukulembeze ow’ensonga.
Ye maama wa minister w’ebyettaka n’amayumba mu Buganda Owek.David Mpanga.
Ye mukyala owokusatu ku bakyala abasooka okufuna degree mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
Ye yasooka okubeera omumyuka w’Omukulu w’esomero lya Gayaza High School.
Ye musomesa omukyala eyasooka okusomesa mu Makerere University.
Yaliko omukiise wa Uganda mu lukiiko lwa LegCo.
Yaliko omubaka wa parliament wakati wa 1996 – 2001 ng’akiikirira district ye Mubende.
Owek. Joyce Mpanga yaliko minister avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abakyala mu government eya wakati okuva mu mwaka gwa 1988 – 1989.
Yaliko minister omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako wakati wa 1989 – 1992.#