Akakiiko ka parliament akekeneenya n’okukuba ttooki mu bantu omukulembeze w’eggwanga b’abeera awadde obukulu mu bifo by’obukulembeze obwenkizo, kasunsudde era nekayisa Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga Flavian Zeija ku kifo kya Ssaabalamuzi w’eggwanga omuggya.
Omulamuzi Flavian Zeija yalondeddwa president wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa nga saabalumuzi omuggya.
Akakiiko ka parliament akakuba ttooki mu mu bakulu abo, kakubiriziddwa sipiika wa parliament Annet Anita Among n’omumyukawe Thomas Tayebwa.
Alipoota evudde mu kwekeneenya o Omulamuzi Flavian Zeija kubwa Ssabalamuzi omuggya, esindiikiddwa eri omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asalewo ekiddako
Omulamuzi Flavian Zeija agenda kudda mu bigere bya ssabalamuzi eyawumudde, Chagamoy Alphonse Owinyi Ddollo eyawumudde obwa ssabalamuzi, oluvanyuma lw’okuweza emyaka 70 egirambikiddwa mu ssemateeka w’eggwanga, ssabalamuzi w’eggwanga n’abalamuzi ba kkooti ensukulumu kwebalina okuwummulira.

Ssemateeka w’eggwanga awa obuyinza omukulembeze w’eggwanga okulonda Ssaabalamuzi w’eggwanga omuggya nga yebuuza ku kakiiko k’eggwanga akavunaanyizibwa ku ssiga eddamuzi ka Judicial service commission.
Omulamuzi Flavian Zeija alondeddwa era nasunsulwa ku bwa Ssaabalamuzi w’eggwanga omuggya, aze ayita mu mitendera egiwerako nga yasooka kulondebwa ng’omuamuzi wa kkooti enkulu mu mwaka 2016, naalondebwa ku kifo Kya principle judge mu mwaka 2019 nga oyo yakulira kkooti enkulu eyeggwanga wamu ne kkooti ento eziri wansi wa kkooti enkulu.
Mu mwezi ogwokubiri omwaka 2025 ,Omulamuzi Flavina Zeija yalondebwa omukulembeze weggwanga nga omumyuuka wa ssabalamuzi w’eggwanga okudda mu bigere byeyali omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera eyali awumudde oluvanyuma lw’okuweza emyaka egiwumirwako.
Ssaabalamuzi flavian Zeija amateeka yagassomera ku Makerere University, yaweerezako mu bank ya tropical ne Finca Uganda nga munnamateeka waazo , yaliko omusomesa w’amateeka ku Makerere University, MUBS ne Uganda Christian University UCU.
Ssaabalamuzi omuggya alindiridde okulayizibwa, egimu ku mirimu gyatandiikirako kwekukuliramu kkooti ensukulumu okuwuliriza omusango Mwami Robert Kasibante eyvuganyizza ku ntebbe y’obwa president bwa Uganda mwawakanyizza obuwanguzi bwa munnaNRM Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa.#












