Parliament ekakasizza nti ababaka ba parliament 8 bebakawandiikira sipiika nga bamutegeeza mu butongole nti baasaze eddiiro okuva mu bibiina by’obufuzi mwebaayingirira parliament ey’omulundi ogwe 11, nebadda mu birala.
Etteeka eriruηamya okulondebwa kw’ababaka ba parliament erya Parliamentary elections Act, liwa omwagaanya eri ababaka ba parliament okukyuuka okuva mu bibiina ebimu okudda mu birala ,kino nga kikolebwa mu mwaka gwa parliament ogusembayo, era ng’ogwa parliament eye 11 ogusembayo gutandise olwa leero nga 05 June, 2025.
Sipiika wa Parliament Anita Annet Among yaalangiridde ababaka abaakyusizza ebibiina, bwabadde aggulawo olutuula lwa parliament olwolwaleero olutudde e Kololo ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo.
Omubaka wa Nyendo Mukungwe era kommissona wa parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba, Omubaka w’ekibuga Entebbe Michael Kakembo Mbwatekamwa ,Omubaka omukyala Ow’ekibuga Masaka Juliet Kakande Nakabuye, omubaka wa Kimaanya Kabonera Dr Abed Bwanika baavudde ku kibiina ki National Unity Platform n’ebegatta ku kibiina ki Democratic Front.
Ababaka okuli Ongerietho Emmanuel owa Jonam County mu district ye Pacwach, ne Anthony Akol Owa Kiraka North bavudde mu FDC nebegatta ku NRM.
Ojara Mqpenduzi Martin omubaka wa Badeghe Laibi mu Kibuga Gulu abadde talina kibiina wabula ng’abadde munna FDC yavuddeyo naye neyegatta ku NRM.
Omubaka Dr Twaha Kagabo owa NUP nga wa Bukoto South naye yegase ku NRM.
Sipiika abaagalizza okuweereza obulungi mu bibiina ebiggya byebagenzeemu.













