Paapa Francis, nga ye Paapa wa eklezia katulika ow’e 266 aziikiddwa mu lutikko ya St.Mary’s Major mu kibuga Roma ekya Italy.

Paapa Francis yava mu bulamu bw’ensi nga 21 April,2025, ku myaka egy’obukulu 88.
Yaleka alaamye okuziika kwe kukwatibwe mu ngeri ensaamusaamu etali yakuddibuuda nnyo.
Okwawukanako ne paapa ababadde baziikibwa mu lutikko ya St.Peter’s Basilica, Paapa Francis yalaama kumuziika mu lutikko ya St.Mary’s Major, eyesuddeko akabanga.
Paapa Francis aziikiddwa mu Ssanduuko 1, nga bweyalaama, okwawukanako ne ba Paapa abaamusooka okufa, abaazikibwa mu ssanduuko 3, nga buli emu etudde mu gyinaayo.
Aziikiddwamu n’ebinusu 12, ebiraga omuwendo gw’emyaka gy’amaze ng’akulembera Eklezia.
Yaloondeebwa ku bwa Paapa mu March 2013, era nga yeyasooka okufuuka Kalidinaali okuva mu mawanga ga Latin America.
Paapa Francis yadda mu bigere bya Paapa Benedict XVI eyali awummudde emirimu olw’obukosefu bweyali afunye, era naye yafa mu 2022 ku myaka 95 egy’obukulu.
Yali Kalidinaali we Argentina, era ng’amannya ge ag’obuzaale n’obubatize ye Jorse Mario Bergoglio.
Aziikiddwa ne Ssappule ng’eyambaziddwa ku ngaloze, ekyambalo ky’obwa Paapa, Empeta ye ey’obwapaapa etemeddwatemeddwa,ng’akabonero akalaga nti omulembe gwe nga Paapa Francis gukomye awo,
Ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi aba bulijjo okuva mu mawanga agenjawulo, saako abakulembeze b’amawanga a basoba mu 170 babaddewo mu buntu abalala baweerezza ababakiikiridde, ku mukolo ogw’okukungubaga n’okusabira Paapa, ogubadde mu kibaangirizi kya St.Peter’s Basilica.
Cardinal Giovanni Battista Re,era nga ye mukubiriza w’olukiiko lw’Abakaliddinaali munsi yonna yakuleembeddemu emikolo g’okusabira n’okuziika Paapa Francis, wakati mu bikumi n’ebikumi by’abakungubazi.
Ba Kakalidinaali abawera 250, saako ba Ssaabasumba, abasasorodooti, abadyankoni, ababiikira n’ebasomesa b’eddiini bangi betabye mu kuziika Paapa Francis.
Wabaddewo akaseera ak’okusirikiirira Okuwonga Omwoyo gwa Paapa Francis eri Omutonzi, n’okujjukira ebirungi byakoledde ensi eno.
Cardinal Giovanni Battista Re, asabye abakkiriza okutambulira mwebyo Paapa byabadde ataambulirako n’okubayigiriza, omuli okukuuma ekitiibwa ky’amaka, Okuzza n’okukuumira abavubuka mu eklezia, okubudaabuda abawejjere n’ababuundabuunda,obwetowaze n’ebirala.
Ennaku 9 eza Nnoveena ez’okukungubagira papa zitandise olwa leero nga 26 April,2025 lwaziikiddwako.

Abakulembeze b’amawanga bangi babaddewo babaddewo, okuziika Paapa Francis, gweboogeddeko nti obukkakkamu n’obwetowaze bwe bwamufuula Entabiro y’e Mirembe n’essuubi, era nti tabadde Paapa w’abakatuliki abali eyo mu kawumbi kalamba n’obukadde 400 okwetoloola ensi yonna, wabula abadde Paapa w’abantu bonna.
Paapa Francis era ye mukulembeze w’eggwanga lya Vatican.
Abantu abasiinga obungi bakomye ku mikolo gy’okuziika egibadde mu kibangiriza kya St.Peter’s Square, abalala babadde babemberedde ku nguudo ze Vatican ne Roma, so nga munda mu lutikko ya St.Mary’e Major Paapa Francis mwaziikiddwa, mukkiriziddwamu ba Kalidinaali bokka.
Mu ngeri yeemu ba Kalidinaali bano mu nnaku 15 zokka balina okuba nga bamaze okwerondamu agenda okufuuka Paapa wa eklezia Katulika owa 267th, era agenda okudda mu bigere bya Paapa Francis.
Mu kiseera kino Omuteesiteesi w’emirimu omukulu e Vativan, Cardinal Kevin Farrell (Carmelengo) yavunaanyizibwa ku byonna ebigenda mu maaso e Vatican ng’aluηamizibwa olukiiko lw’abakalidinaali, okutuusa nga Paaapa omuggya alaangairiddwa.

Cardinal Giovanni Battista bw’abadde ayigiriza mu kusabira omwoyo gw’omugenzi Paapa Francis, agambye nti Paapa buli lwabadde amaliriza okwogera eri abantu bonna, naabo babadde atera okusisinkana kinnoomu n’ayogera nabo, ng’abagamba nti “Temwerabira/teweerabira okunsabira”
“Naffe tukusaba Paapa Francis ng’otuuse ewa kitaawo mu ggulu gw’oweerezza obuteebalira, naffe Tusabirenga, osabire Roma osabire n’ensi yonna efune emirembe” – Cardinal Giovanni Battista Re
xxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxx
PAAPA FRANCIS:
-Amannyage amazaale n’amabatize ye Jorge Mario Bergoglio
-Kitaawe: ye mugenzi Mario Jose Bergoglio ne Nnyina Regina Maria Sivori
-Ye yali omwana Omuggulanda ku baana 5 abaazaalibwa bazaddebe
-Yazaalibwa nga 17 December,1936 mu Argentina
-Yafa nga 21 April,2025 mu nnyumba ya Casa Santa Martha mu kisenge No.201 mwabadde asula okuva lweyafuuka Paapa.
-Yabatizibwa ku ssekukkulu ya 1936 mu lutikko ya Maria Auxiliadora san Carlos mu ssaza lye Buenos Aires mu Argentina
-Yasoma era naafuna Komunyo esooka nga wa myaka 7 egy’obukulu
-Yegatta ku kibiina kya bannaddiini ekya Jesuits ku myaka 21 egy’obukulu
– Mu biseera by’obuvubuka bwe yafuna obulwadde obwamutawaanya, era nebumuviirako okuloongosebwa era negasalibwako n’ekitundu
-Yayawulibwa naafuna obusasolodooti nga 13 December,1936, nga yali abulako ennaku 4 zokka okuweza emyaka 33 egy’obukulu
– Abadde buwagizi wa mupiira, naddala ttiimu ya San Lorenzo eye Argentina
-Yalondebwa okubeera Bishop mu 1992
-Yafuuka Ssaabasumba w’essaza ekkulu erye Buenos Aires mu Argentina mu 1997
-Paapa John Paul II yamwawula naamufuula Kalidinaali, nga 21 February,2001
– Nga 13 March,2013 Jorge Mario Bergoglio yalondebwa olukiiko lwa bakalidinaali, naafuuka Paapa owa 266, era nalonda erinnya lya Paapa Francis.
-Yadda mu bigere bya Paapa Benedicto XVI, eyali awummudde obuweereza olw’obukozesefu, era naye yafa mu 2022.
xxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxxx
VATICAN:
-Vatican ggwnga eryetongodde era nga lyerisiinga okubeera ettono munsi yonna.
-Eggwanga lino lyatondebwawo mu 1929 mu ndagaano emanyiddwa nga Lateran treaty, eyafuula Vatican City n’ensi entukuvu eya Eklezia Katulika, era eggwanga eryetongodde wadde ng’eri wakati mu Italy, wabula nga ba Paapa baali era bakikulembera okuva emabega mu myaka egyayita okuva mu AD 756.
-Lirimu bannansi abali mu 882 okusinziira ku kubala okwakolebwa mu 2024, era nga Paapa abeerako yabeera alikulembera.
Vatican eweza obugazi bwa square kilometer 0.44
-Vatican etuula butereevu era erina ababaka mu kibiina ky’amawanga amagatte ki United Nations
-Abantu abakolera e Vatican basoba mu 5000.
-Lutikko ya St.Peter’s Basilica eri mu Vatican, era ng’eri kinnya na mpindi n’ensalo ya Roma.
-Vatican eri wakati mu kibuga Roma ekya Italy
-Abantu ababeera munda mu kibangirizi kya St.Peter’s Square babeera bayingidde Vatican, wabula olufuluma ebweru wakyo obeera oyingidde Italy.