Ppaapa Francis asitudde okwolekera Democratic Republic of Congo ku bugenyi bw’obutume, bwagenda omukalako ennaku ssatu mu ggwanga eryo.
Ppaapa bwanaava mu Congo, wakwolekera South Sudan ku bugenyi bwebumu.
Agenda kusabira amawanga ago agataaguddwataaguddwa entalo gabukalemu emirembe, n’eddembe ly’obuntu ebyannamaddala.
Ppaapa Francis yali wakukyalako mu mawanga gano omwaka oguwedde 2022 mu July, wabula n’afuna obuvune obwamuwaliriza okuyimiriza mu bugenyi buno.#