• Latest
  • Trending
  • All

Paapa Benedict XVI aziikibwa leero – Soma ku byafaayo ebigobererwa mu kuziika ba paapa

January 5, 2023
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

April 10, 2026

Ba ssentebe ba district 146 abaawangula akalulu ka 2026 bassiddwa mu kyapa ky’eggwanga ekikulu – The Uganda Gazette

April 10, 2026
Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

April 10, 2026
Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

April 9, 2026
Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

April 9, 2026
Ebitongole n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijoozi gy’amazaalibwa ga Kabaka ga Sunday nga 12 April ,2026 – abayizi b’amasomero bafalaasiddwa okwekuuma siriimu batuukirize ebirooto byabwe

Ebitongole n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijoozi gy’amazaalibwa ga Kabaka ga Sunday nga 12 April ,2026 – abayizi b’amasomero bafalaasiddwa okwekuuma siriimu batuukirize ebirooto byabwe

April 8, 2026
Eyali minister Agnes Nandutu asingisiddwa omusango gw’okubulankanya amabaati g’abawejjere b’e Kalamoja

Eyali minister Agnes Nandutu asingisiddwa omusango gw’okubulankanya amabaati g’abawejjere b’e Kalamoja

April 8, 2026
MunnaNUP Waiswa Mufumbiro awandiikidde Ssaabalamuzi wa Uganda aweebwe akakalu ka kooti asobole okuziika mukyala we

MunnaNUP Waiswa Mufumbiro awandiikidde Ssaabalamuzi wa Uganda aweebwe akakalu ka kooti asobole okuziika mukyala we

April 8, 2026
Hassan Alwi alondeddwa nga munnabyamizannyo asiinze banne mu mwezi gwa March 2026 – mu nsengeka za Real Stars Sports Agency

Hassan Alwi alondeddwa nga munnabyamizannyo asiinze banne mu mwezi gwa March 2026 – mu nsengeka za Real Stars Sports Agency

April 8, 2026
Oludda oluvuganya government mu parliament lwanjudde embalirira y’ensimbi ya Trillion 71.4 gyebagamba nti yeyandisobodde okuweereza eggwanga mu mwaka 2026/2027

Oludda oluvuganya government mu parliament lwanjudde embalirira y’ensimbi ya Trillion 71.4 gyebagamba nti yeyandisobodde okuweereza eggwanga mu mwaka 2026/2027

April 7, 2026
Omuyimbi Irene Ntale ne bba bakiise embuga – Katikkiro Mayiga abakubirizza okukuuma obufumbo bwabwe kubanga kyakulabirako eri abalala

Omuyimbi Irene Ntale ne bba bakiise embuga – Katikkiro Mayiga abakubirizza okukuuma obufumbo bwabwe kubanga kyakulabirako eri abalala

April 7, 2026
Ababaka ba NRM abaggya batandise olusirika lwabwe e Kyankwanzi – bassiddwako obukwakkulizo

Ababaka ba NRM abaggya batandise olusirika lwabwe e Kyankwanzi – bassiddwako obukwakkulizo

April 7, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home World News

Paapa Benedict XVI aziikibwa leero – Soma ku byafaayo ebigobererwa mu kuziika ba paapa

by Namubiru Juliet
January 5, 2023
in World News
0 0
0
0
SHARES
151
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Missa ey’okusabira paapa Benedict XVI etandise mu klezia ya St Peters Basilica e Vatican, era gy’agenda okuziikibwa.

Ebikumi n’ebikumi by’a kristu bikungaanidde mu kibangirizi kya lutikko ya Basirica okumuwerekera.

Eklezia katulika munsi yonna etegese okusaba okwenjawulo, era wano mu Uganda Missa y’okusabira omwoyo gwa Ppapa Benedict XVI egenda kubeera ku Lutikko e Lubaga, kwakukulemberwamu omubaka wa paapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco.

Ebimu ku byafaayo ebizze bigobererwa mu kuziika ba paapa:

Paapa bw’aba afudde alina okwambazibwa ekyambalo ky’obwa paapa ekijjuvu, era tewali muntu yenna akkirizibwa kukwata mulambo gwe kifaananyi, nga tegwambaziddwa kyambalo.

Paapa Benedict XVI

Alina okuziikibwa wakati w’ennaku 4 ku 6 okuva ku lunaku lweyafiiriddeko. Paapa Benedict yafa nga 31 December,2022.

Paapa agalamizibwa mu kifo ekimanyiddwa nga Clementine chapel ekiri mu klezia ya St Peter’s Basilica, era abantu ba bulijjo gyebagenda okumukubirako eriiso evvanyuma.

Abantu abasoba mu mitwalo 200,000 bebakubye eriiso evvanyuma ku paapa Benedict, era yalaama nti aziikibwe mu ngeri ya kimpowooze.

Paapa Benedict abadde era takyali mukulembeze wa ggwanga, ate era abadde takyali Paapa omujjuvu oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gy’obwa paapa mu 2013 bweyategeeza nti yali awulira takyeyinza olw’embeera y’obulamu bwe.

Eklezia katulika gakkirizzaaki Amawanga abiri gokka, okuweereza abakulembeze b’amawanga ago mu bitiibwa byabwe ebijjuvu, okuli Italy ne Germany paapa Benedict XVI gy’azaalwa.

Wabula abakulembeze abalala basobola okugenda okuziika kulwabwe ng’abantu abalala.

Kino kyawukanako nga bwegwali mu 2005 mu kuziika paapa John Paul II, abakulembeze b’amawanga 100 bebaamuziika, kubanga ye weyafiira yali akyali paapa omujjuvu era omukulembeze we Vatican.

Ebirala ebigobererwa mu kuziika paapa

Paapa aziikibwa mu ssanduuko ssatu (Cypress coffin, Lead (zinc) coffin ne Elm  (oak) coffin)

Cypress coffin yesooka munda, era eno yeraga akabonero nti paapa muntu era nti naye muntu wa bulijjo ng’abantu abalala.

Ssanduuko eno essibwamu obusawo obussibwamu ebinusu ebyakolebwa mu zzaabu, silver ne copper.

Buli nsawo ebeeramu omuwendo gw’ebinusu ebyenkanankana n’emyaka gy’obukulu paapa gy’abadde nagyo. (Paapa Benedict yafiiridde ku myaka 95)

Ssanduuko eya cypress coffin essibibwa bulungi n’obuwero 3 obwa silk, olwo n’eryoka essibwa mu ssanduuko eyokubiri eyitibwa Lead coffin.

Ku ssanduuko eya lead coffin kwekussibwa omusaalaba, erinnya lya paapa n’emyaka gy’abeera amaze ku bwa paapa.

Ssanduuko esemba ku ngulu eyitibwa Elm (oak) coffin yeraga ekitiibwa ky’obwa paapa.Era eno okugiggala ekubibwamu emisumaali egyakolebwa mu zzaabu.

Paapa yenna alina obuyinza okusalawo n’okulaama ekifo n’emibuga gyayagala aziikibwe ng’afudde.

Wabula ba paapa abasinga obungi baziikibwa mu St Peter’s Basilica era ewaaziikibwa omutukuvu Petero, ne Benedict gyagenda okuziikibwa.

 

Okusaba n’okukuma olumbe lwa paapa nga kuwedde, waliwo ekide ekikubwa nekivuga omulundi gumu, olwo ssanduuko omuziikiddwa paapa nessibwa mu ntaana, nekubikkibwako ejjinja eddene eribeera lizimbiddwa mu musenyu n’amayinja.

Wadde nga waliwo ebintu ebyenjawulo ebirambikibwa mu kuziika ba paapa, wabula bigenda byawukanamu mu ba paapa abenjawulo, nga bwebaba baalaama oba nga klezia bwebeera esazeewo mu kiseera ekyo.

Ku lunaku lwa Tuesday olwa wiiki eno, Vatican yategeezezza nti ebyafaayo byonna ebikwata ku bukulembeze bwa  Benedict XVI nga paapa owe 265, byakubiddwa mu kyapa, ekigenda okussibwa mu ssanduuko mwagenda okuziikibwa.

Paapa Benedict XVI yawummula mu 2013, Paapa Francis nalondebwa, nga kino kyali kyasemba okubaawo mu mwaka gwa 1415, gye myaka 600 egyali giyiseewo paapa Girigooli naye bweyasalawo okuwummula.

Paapa Francis I eyadda mu bigere bya Benedict XVI,yebazizza Katonda eyakkiriza okuwaayo Paapa Benedict XVI eri klezia.

“We feel in our hearts so much gratitude. Gratitude to God for having given him to the Church and to the world. gratitude to him.” Paapa Francis

Paapa Benedict ku myaka 78 mu 2005 lweyalondebwa olukiiko lwa bakaliddinaali munsi yonna, n’afuuka paapa owa 265.

Paapa Benedict ng’amannya ge amazaale ye Joseph Ratzinger, oluvannyuma lw’okulondebwa ku bwa paapa yalonda erinnya erya Benedict XVI.

Paapa Benedict XVI yazaalibwa mu 1927, naafa nga 31 December,2022 ku myaka 95 egy’obukulu.#

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026
  • Ba ssentebe ba district 146 abaawangula akalulu ka 2026 bassiddwa mu kyapa ky’eggwanga ekikulu – The Uganda Gazette
  • Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja
  • Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe
  • Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist