Amagye ga UPDF gakutte omusirikale Corporal Avugo Lomuro abadde yadduse, oluvannyuma lwókukuba basirikale banne 2 amasasi n’abatta.
Agabakubidde mu nkambi omukungaanira amagye g’e kibinja ekyómunsozi mu Kibuga Fort Pprtal.
Okusinziira ku Magye ga UPDF, Omusirikale Avugo Lomuro abadde omu kubagoba b’ennyonyi eziyamba abafunidde obuvune mu ddwaniro.
Kigambibwa nti basoose kufuna butakaanya ne banne naabasindirira amasasi, 2 bafiiriddewo abalala nebaddusibwa mu ddwaliro ng’embeera mbi.
Amyuka omwogezi wa Magye ga UPDF Col Deo Akiiki ategezezza nti omusirikale Ono akukunudwa mu bitundu bye Saka ku luguudo lwe Kagote- Kichwamba mu District ye Kabalore gyabadde yekukumye.
Bisakiddwa: Ssebuliba William