Government ekwataganye nebanakyewa aba Punda UK Ltd nebatandikawo omwoleso gweby`obulimi n`obulunzi, ogugenda okubeera mu kibuga London ekya Bungereza okugaziya akatale k’ebirime bya Uganda.
Omwoleso gwakubaawo wakati wennaku z`omwezi 18th ne 19th June, 2026.
Omwoleso guno gutuumiddwa Taste Of Uganda Agro-Trade Exhibition 2026.
Gutongozeddwa Omumyuka asooka owa Ssabaminister era Minister avunanyizibwa ku nsonga z`Omukago gwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga, ku Fairway Hotel mu Kampala.
Minister Rebecca Alitwala Kadaga agamba nti ku katale ke bulaaya bannaUganda babadde businga kutwalato byamaguzi bitali byongereko mutindo, nti naye omwoleso guno gugenda kuyamba bannauganda okwongera okubyongerako omutindo, okwekulakulanya wamu ne government okufuna emisolo.
Ann Ngoma ku lwa Punda UK limited abategese Omwoleso guno, ategezeeza nti bannauganda abagenda okutwalibwa mu mwoleso guno, bagenda kusooka kwekebejja byamaguzi byabwe okukakasa nti byamutindo era sibyabulabe eri obulamu bw’abantu.
Ssenkulu wekitongole ekitaba abakola nabatuusa kuno ebikozesebwa mu kulima ekya Crop Life Uganda Dr Agness Mbabazi, ategezezza nga bwebagenda okusooka okutekateeka bannauganda abagenda okutwala ebyamaguzi byabwe mu mwoleso ogutegekeddwa mu Bungereza, okwewala okubitusaayo nga tebitukaganye namutindo ogusaanidde.










