Entiisa ebuutikide abatuuze ku mwalo gwe Ssenyi mu ggombolola ye Ssi -Bukunja mu district ye Buikwe, omukyala nekoleragyange Alaaki Esabero bw’afumise omuvubuka myaka 22 ekiso n’amutta Oluvanyuma lwokufuna obutakanya.
Attiddwa ategerekese nga ye Luyima Maisowe myaka 22, nga kigambibwa nti abadde yakasenga ku kitundu emyezi esatu egiyise.
Kigambibwa nti abadde yakwana omuwala oyo n’amulekera aka radio kr, wabula bweyayagadde okukamuggyako nebasoowagana ekyaddiridde kulwana.
Omuvubuka agezezaako okwetaakuluza ku muwala n’alinnya eddirisa adduke, awo omuwala wamufumitidde ekiso ekimusse.
Alaaki Esabero akwatiddwa naggalirwa ku police ye Ssenyi.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher