Police eri ku muyiggo gw’abatemu abasse Omuserikale w’Amakomera Angu Scovia,abadde akolera ku Kkomera lye Etuke.
Omwogezi w’Ekitongole ky’Amakomera Frank Baine agambye nti abantu babiri Otim Francis ne Okello Julie baakwatiddwa, nebalonkoma ne Steven Omara nti yeyabakulembeddemu okutirimbula omuserikale w’Amakomera era ye tanalabika.
Kigambibwa nti abatemu baagwiikirizza Angu okumpi n’ekkomera ewaabadde wategekeddwa ekivvulu.
Mu birala ebiri mu makomera, ekitongole ky’Amakomera nga kiri wamu n’ekitongole ky’amawanga amagatte ekirwanyisa ebiragalalagala kko n’akakuiko k’eddembe ly’Obuntu kitegese olukungaana olwenjawulo, olugenda okukuba tooki mu ngeri abakyala abasibe abali mu makomera mu Africa gyebayinza okubeera n’eddembe lyabwe ery’Obwebange.
Olukungaana luno lutandika nga 18.10.2023 ku Speke Resort hotel Munyonyo, lukomekkerezebwe nga 20.10.2023.
Amakomera ga Uganda galimu abasibe abakyala 2700, ng’abasinga emisango gyebalina gyekuusa ku butabanguko mu Maka.
Bisakiddwa: Kato Denis