• Latest
  • Trending
  • All
Omusawo w’ekinnansi asaliddwa ekibonerezo kyakusibwa mayisa – avunaaniddwa gwakugezaako kusaddaaka mwana

Omusawo w’ekinnansi asaliddwa ekibonerezo kyakusibwa mayisa – avunaaniddwa gwakugezaako kusaddaaka mwana

July 19, 2023

Omubaka wa Germany mu Uganda H.E Mathias Schauer yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Uganda – Kabaka@71

April 12, 2026

Kabaka@71 – Nnaabagereka, abalangira n’abambejja betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka

April 12, 2026

Ssaabasajja Kabaka asimbudde emisinde gy’amazaalibwa ge age 71 – asiimye naye naatambula n’abamu ku bantu baasanze nga tebasobola kudduka

April 12, 2026
Ssaabawaabi w’emisango gya government agguddewo emisango emiggya eri abakozi ba ministry y’ebyensimbi 9 – abagambibwa okubeera abalyake n’okwenyigira mu kukusa ensimbi obuwumbi 60 okuyita ku mitimbagano

Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB

April 10, 2026
Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB

Abavubuka baleese ebirabo by’amazaalibwa ga Kabaka age 71 – bakubiriziddwa okukuuma empisa buli webabeera

April 12, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Maapu y’ebitundu awanayita abaddusi b’emisinde gya Kabaka Birthday run 2026 yiino

April 10, 2026
Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula emisinde gy’Amazaalibwa ge ku sunday nga 12 April,2026

April 10, 2026

Ba ssentebe ba district 146 abaawangula akalulu ka 2026 bassiddwa mu kyapa ky’eggwanga ekikulu – The Uganda Gazette

April 10, 2026
Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

Omuliro gusanyizaawo ekisulo ky’abayizi ku Nnakanyonyi Girls SS e Jinja

April 10, 2026
Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

Olutalo lw’ebigambo mu bagala ekifo kya sipiika wa parliament – President Museveni alambise ku nteekateeka ya CEC ey’okusemba beyagala balondebwe

April 9, 2026
Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

Government etongozza enkola ey’okuddamu okugabira abantu obutimba bw’ensiri ku bwereere – ey’omwaka 2026

April 9, 2026
Ebitongole n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijoozi gy’amazaalibwa ga Kabaka ga Sunday nga 12 April ,2026 – abayizi b’amasomero bafalaasiddwa okwekuuma siriimu batuukirize ebirooto byabwe

Ebitongole n’abantu kinnoomu bajjumbidde okugula emijoozi gy’amazaalibwa ga Kabaka ga Sunday nga 12 April ,2026 – abayizi b’amasomero bafalaasiddwa okwekuuma siriimu batuukirize ebirooto byabwe

April 8, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Omusawo w’ekinnansi asaliddwa ekibonerezo kyakusibwa mayisa – avunaaniddwa gwakugezaako kusaddaaka mwana

by Namubiru Juliet
July 19, 2023
in Amawulire
0 0
0
Omusawo w’ekinnansi asaliddwa ekibonerezo kyakusibwa mayisa – avunaaniddwa gwakugezaako kusaddaaka mwana
0
SHARES
56
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Kooti ejulirwamu esazeewo nti omusawo w’ekinnansi eyabuzaawo omwana wa mulirwana ow’emyaka 2 n’amukolerako ebyawongo, okusibwa mu kkomera obulamu bwonna.

Bino byali ku kyalo Namiyaga mu district ye Rakai mu July 2008.

Mu mwezi gwa March kooti enkulu eyatuula e Masaka ng’ekulirwa omulamuzi Justice John Eudes  Keitirima yasingisa Stephen Wasswa omusango gw’okuwamba omwana eyali ow’emyaka 2 n’ekigendererwa eky’okumusaddaaka.

Kooti yamusalira ekibonerezo kyakwebaka mu nkomyo emyaka 45.

Obujulizi obwaleetebwa mu kooti bulaga nti Stephen Wasswa eyali omusawo w’ekinnansi yafuna obutakkaanya n’abaali baliraanwa be era bazadde b’omwana, oluvannyuma lw’okubateebereza nti baali bawadde enkoko ze obutwa.

Mu muyombo olwaddirira Wasswa yabasuubiza okubakola ekintu kyebalifa tebeerabidde.

Ekyaddirira ye mwana wabwe omuwala eyali ow’emyaka 2 okubuzibwawo ng’ennaku z’omwezi 19 July,2008, bweyali agoberedde banne abaali bagenze mu nnimiro okuloondererayo enku.

Abazadde baawaaba omusango ku police era n’etandikirawo omuyiggo, wabula omwana n’abula.

NObujulizi era bulaga nti wakayita ennaku ntono ng’omwana abuze, Stephen Wasswa eyali omusawo w’ekinnansi yasenguka ku kyalo tebaddamu kumulabako.

Nga wayise omwaka gumu n’ekitundu, ennaku z’omwezi zaali 19 December, 2009, waliwo abazirakisa abasanga ekkutiya ng’esibiddwa n’esuulibwa mu nsiko ku kyalo Njagala Kasaali

Ekkutiya eno yali evaamu eddoboozi eryali teritegeerekeka, okugyetegereza nga mulimu mwana yali tasobola kwekyusa wadde okwogera.

Bategeeza ab’obuyinza era n’atwalibwa mu ddwaliro okujanjabibwa.

Omwana ono baasaanga ekitundu ky’olulimi lwe kyasalibwa nga kyasigala kitundu, amannyo gaakulwamu,enjala z’engalo n’ebigere nga nazo zaakulwamu,  n’ebitundu by’ekyama nga byonna byataagulwataagulwa.

Omwana ng’atwaliddwa mu ddwaliro, kigambibwa nti Stephen Wasswa yagendayo n’amulambulako akaseera katono neyemulula n’abulawo.

Ebirango byatandika okuyisibwa ku radio nga biranga omwana eyali azuuliddwa, era mu bajja okumulaba mwemwajjira n’ennyina w’omwana eyakakasa nti yali mwana we eyabula omwaka mulamba n’ekitundu ogwali guyiseewo.

Abantu abaali mu ddwaliro nga bajanjaba omwana, baali betegereza Stephen Wasswa , era bwebannyonyola enkula ye, nnyina w’omwana n’ategeera nti ye musawo w’ekinnansi eyali muliraanwa.

Police yatandika okumugigga era n’emuzuula n’emuggulako omusango gw’okuwamba omwana n’ekigendererwa eky’okumusaddaaka, era kooti nemusingisa omusango mu 2017 n’ekibonerezk kya myaka 45.

Omwana wadde yafuna obujanjabi naye yasigala agongobadde, tasobola kweriisa, okwekyusa wadde okwekolera ekintu kyonna, era mu kiseera kino alabirirwa amaka agalabirira abaana aga Kyampisi Children’s Home.

Stephen Wasswa yajulira ku kibonerezo eky’okusibwa emyaka 45 ng’ayagala bamukeendeerezeeko, era ssaabawaabi wa government omusango n’agwezza era n’asaba ekibonerezo kyongerweko.

Wabula abalamuzi 3 aba kooti ejulirwamu abakulembeddwamu omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera, balabye embeera omwana gy’alimu nga bayita ku katambi akaakwatiddwa.

Bakkiriziganyizza ne Ssaabawaabi wa government nebasalawo nti Stephen Wasswa asibwe mu kkomera obulamu bwe bwonna.

Ng’emu ku nteekateeka y’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’omwana ono, wofiisi ya Ssaabaqaabi wa government ng’eri wamu ne
Kyampisi Children’s home bategese olukungaana olw’enjawulo n’ekivvulu ekituumiddwa “HOPE GALA” ekigenderera okumanyisa abantu ku kabi akakwata ku kisaddaaka baana n’okuzzaamu essuubi abaana ababeera basimattuse ku mulamwa ” Healing the scars”.

Bisakiddwa: Betty Zziwa

 

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Omubaka wa Germany mu Uganda H.E Mathias Schauer yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Uganda – Kabaka@71
  • Kabaka@71 – Nnaabagereka, abalangira n’abambejja betabye ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka
  • Ssaabasajja Kabaka asimbudde emisinde gy’amazaalibwa ge age 71 – asiimye naye naatambula n’abamu ku bantu baasanze nga tebasobola kudduka
  • Abasomesa 7 basindikiddwa mu nkomyo omwaka mulamba – basingisiddwa gwakwenyigira mu kubba ebibuuzo bya UNEB
  • Abavubuka baleese ebirabo by’amazaalibwa ga Kabaka age 71 – bakubiriziddwa okukuuma empisa buli webabeera

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist