Nabbambula w’omuliro atanategerekeka kwavudde asanyizaawo ennyumba z’abatuuze e Lusaze mu gombolola ye Lubaga mu kibuga Kampala.
Kitegerekese nti omuliro guno gugenze okukwata nga bannyini mayumba gano bonna bali ku mirimu era bonna babakubidde ssimu okubategeeza nti amayumba gamwe gaweddewo.
Abamu ku batuuze abogedeko ne cbs bagamba nti police ezikiriza omuliro egenze okutuuka e Lusaze ng’ebintu ebiwerako bifuuse muyonga era tewali kyamanyi kyebataasiza.
Police yabazinya mwoto ekyanoonyereza ekiyinza okuba nga kyekivuddeko omuliro guno.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif