Nabbambula w’omuliro akutte ennyumba z’abatuuze ku kizinga Luwero mu town council ye Lyabaana mu bizinga bye Buvuma ebintu bingi bisirisse, nga kigambibwa nti mwandiba nga mufiiriddemu omuntu.
Kansala w’ekitundu Mubiru Denis Maxwell agambye nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku mutuuze abadde afumba ate nga mu nnyumba mulimu amafuta agakutte omuliro olwo negusaasanira ennyumba endala.
Omubaka wa parliament ow’e Buvuma Robert Migadde agambye nti ekizinga kino Luwero kizze kikosebwa enjega ez’enjawulo, nga kyakwata omuliro mu October wa 2019 saako okukosebwa amazzi g’ennyanja eyajjula neyera ebintu by’abatuuze.
Ekizinga kino Luwero kiri ku nsalo ya Uganda ne Tanzania era nga tekikkirizibwa kugenda mukazi yenna.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher.