Okusaala Idd ku muzikiti e Kibuli kukulembeddwamu Sheikh Yasin Kiweewa era yakulembedde ne kuttubba.
Akubirizza abasiramu okukulembeza empisa mu kiseera kino ekiddako nga bwe babadde mu Ramadhan.
Obubaka bwa Ssabasajja Kabaka obwagaliza abaddu ba Allah idd ennungi, busomeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Dr Al Hajji Twaha Kawaase Kigongo, mu kusaala Idd El Fitil ku muzikiti e Kibuli.
Jjajja wóbusiramu Omulangira Dr Kassim Nakibinge Kakungulu asabye government okukola ekisoboka mu bwangu okukendeeza ku miwendo gyébintu egyekanamye.
Omulangira Nakibinge awadde eby’okulabirako ebiyinza okukolebwa, nga okukendeeza ku misolo egibinikibwa ku bintu bino ate nókukendeza ensasaanya ku bintu ebitazimba ggwanga.
Wabula ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja asaalidde ku muzikiti gwa Old Kampala, naagamba nti government sinneetegefu kukendeeza misolo, wabula tegenda kujirinnyisa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Supreme mufuti wa Uganda Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi, asabye abasiramu okuwagira ennyo office ya supreme mufti, naddala mu kiseera kino ng’efunvubidde okutuusa obuweereza eri abasiraamu mu Uganda yonna n’okwongera ku maali y’obusiramu.
Okusaala kuno kwetabidwako Owek Hamis Kakomo minister omubeezi ow’obulimi mu Buganda,Owek Mariam Mayanja Nkalubo minister w’ettaka,obulimi n’obutonde bwensi, n’abalala bangi.
Okusaala bwekuwedde, jajja w’obusiraamu mu Uganda Omulangira Kassim Nakibinge n’agabula abasiraamu ekijjulo mu maka ge e Kibuli, nga bwebasanyusibwa abakubi b’amataali.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe
Ebifaananyi: Musa Kirumira