Omulamuzi Julia Ssebutinde munnauganda atuula mu kkooti y’ensi yonna etaawulula entalo n’obutakaanya wakati w’amawanga eya International court of Justices, alondeddwa okubeera omumyuka wa president wa kkooti eno.
Ekifo kino wakukiweererezaamu okumala ebbanga lya myaka 3.
Omulamuzi Julia Ssebutinde, yegatta ku kkooti eno ng’omulamuzi waayo okuva nga 06 February, 2012, era kati yakamalayo emyaka 12 ng’aweereza mu kkooti eno etuula mu kibuga Heague ekya Netherlands.
Omulamuzi Julia Ssebutinde ye ssenkulu wa University ya Kabaka eya Muteesa I Royal University.
Yaweerezaako mu ggwanga lya Sierra Leone wakati w’omwaka 2005 ne 2011 ng’omulamuzi mu kkooti eyenjawulo ,gyeyava okwegatta ku kkooti eno eya international court of justices.
Omulamuzi Julia Ssebutinde yemukyala yekka eyasooka ku Ssemazinga Africa, okuweereza ng’omulamuzi mu kkooti eno eya international court of justices.
Ssebutinde webamulondedde ku kifo ky’obumyuka nga kyaggye awe ensala eyawukana n’abalamuzi ba kooti eno abalala 15, ekwata ku lutalo oluli e Gaza wakati wa Israel ne Palastine, mu musango ogwatwalibwayo South Africa.
South Africa yasaba kooti eno eragire Israel okukomya okutirimbula abantu be Gaza, ng’erumiriza ebikolwa bya Israel mu lutalo luno byali mu ekitta bantu ekigenderera okusanyaawo aba palastine.
Mu nsala y’omulamuzi Ssebutinde yategeeza nti olutalo lwe Gaza olwali lumaze ebyeya n’ebisiibo, lwali lwetaaga abakulembeze b’ebyobufuzi abalukumamu omuliro okwekuba mu kifuba balukomye, nti n’olwekyo lwali terusobola kuzikizibwa na nsala za kooti eyo eya International court of justices.
Ensala eyo yasiikuula emeeme z’abantu okwetoloola ensi yonna nebavumirira omulamuzi Ssebutinde, nti wakiri yandivumiridde ekya Israel okukuba ebikompola ku Gaza ebisse abantu ba ssaalumanya ne bannalumanya nalema nsonga za lutalo kuzirekera bannabyabufuzi okusalawo ekiddako
Ba memba ba Kooti eno International court of justice balonze omulamuzi Nawaf Salim munnansi wa Lebanon nga president omuggya owa kkooti eno, okudda mu bigere by’Omulamuzi Joan Donoghue munnansi wa America abaddeko.#