Omulamuzi Dr. Flavian Nzeija alayiziddwa ku kifo kyomumyuka wa Ssaabalamuzi wa Uganda okudda mu bigere by’Omulamuzi Richard Buteera ayawumudde emirimu gy’obulamuzi.
Buteera yawezezza emyaka 70, omumyuuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga gyawummulirako okusinziira ku ssemateeka w’eggwanga lino.
Dr.Flavian Nzeija abirayiro ebimukakasizza ng’Omumyuka wa Ssaabalamuzi w’eggwanga abikubidde mu maka g’Obwa President Entebbe, mu maaso g’omukulembeze weggwanga Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni.
DR Flavian Nzeija kinnajjukirwa nti yaabadde akulira kkooti enkulu amanyiddwanga nga Principle Judge, Omukulembeze weggwanga gyeyamulonda okufuuka omumyuuka wa Ssaabalamuzi mu February,2025.
Ebirayiro abikubye mu nsisisinkano eyetabiddwamu Ssaabalamuzi yennyini Alphonse Owinyi Ddolo, Omuteesiteesi omukulu owessiga eddamuzi Pius Bigirimana, Ssentebe w’akakiiko akalondoola n’okufuga essiga eddamuzi ka Judicial Service Commission Dr. Daglous Singiza n’omumyuuka wa Ssaabalamuzi omuwumuze Richard Buteeera
Richard Buteera awumudde obuweereza, ng’essiga eddamuzi alimazeemu emyaka 44.#